TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omu ku balongo abasinga obukadde mu Uganda aziikiddwa

Omu ku balongo abasinga obukadde mu Uganda aziikiddwa

By Joseph Makumbi

Added 2nd January 2017

"MAAMA yafudde ayogera ku ssimu ng’akubira abaana be bonna, eddoboozi teryakyuseemu wadde okutuusa lwe yasirise", Mady Kayaga muwala wa Lovinsa Babirye eyawangula ekirabo ky’abalongo abasinga obukadde mu ntujjo y’abalongo eyategekebwa Vision Group bwe yategeezezza.

Balongo1 703x422

Nakato (ku ddyo) ne Babirye eyafudde

Bya Joseph Makumbi

"MAAMA yafudde ayogera ku ssimu ng’akubira abaana be bonna, eddoboozi teryakyuseemu wadde okutuusa lwe yasirise", Mady Kayaga muwala wa Lovinsa Babirye eyawangula ekirabo ky’abalongo abasinga obukadde mu ntujjo y’abalongo eyategekebwa Vision Group bwe yategeezezza.

Yagambye nti, yamukubidde essimu n’amuyita agende abeere naye mu makage e Baamunaanika n'amutegeeza nti yabadde mulwaddelwadde wabula n’amulemerako nti agende bamujjanjabire mu kyalo.

“Maama yakubidde buli mwana n'ayogera okutuusa lwe yasirise, ate ennaku eziyise abadde agabira abaana n'abazzukulu ebintu ng’abagamba nti bino bya gundi waliwo n’engoye ze yateeka mu kisero n’abagamba nti zino za Carol muzukkulu we.” Kayaga bwe yagambye.

Yagasseeko nti nnyina bwe yamukubidde essimu n’amulemerako agende mu kyalo, yafunye emmotoka wabula yagenze okutuuka nga omukadde yafudde dda.

“Maama yafiiridde waka yali yagaana okumutwala mu ddwaaliro ng’agamba nti tulindeko ennaku enkulu ziggwe wabula bwe zaawedde ate yatugenzeeko bugenzi.” Kayaga bwe yagambye.

Carol Nakiwu muzzukulu wa Babirye yagambye nti, jjajjaawe abadde atawaanyizibwa puleesa ne ssukaali era bwe bwamuviiriddeko omutima okwesiba n’akutuka ku ssaawa 6:15 ez’emisana.

Babirye afiiridde ku myaka 85 era agenda yaziikiddwa e Baamunaanika mu Luweero.

Kayaga yagambye nti beeraliikirivu ku Nakato asigaddewo era baamuganyi okulaba ku mulambo gwa Babirye kubanga tebamanyi kiki kiyinza kumutuukako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...