TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bagudde mu lukwe lw'okufulumya Kanyamunyu e kkomera

Bagudde mu lukwe lw'okufulumya Kanyamunyu e kkomera

By Musasi wa Bukedde

Added 12th January 2017

Bagudde mu lukwe lw'okufulumya Kanyamunyu e kkomera

Ka1 703x422

Winnie Byanyima ( ayimiridde ku ddyo) ng’abuuza ku Bakanyamunyu mu kkooti ku Lwokubiri.

Mathiew Kanyamunyu ne banne bazze mu kkooti ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga bamanyi we bunaazibira bajja kuba balya butaaka.

Kalondoozi wa Bukedde akulaga engeri gye baabadde baluse olukwe lw’okuyimbulwa nga bayambibwako Winnie Byanyima, muka Dr. Kizza Besigye.

KANYAMUNYU bwe yazze ku kkooti ku Lwokubiri lwa wiiki eno, buli muntu yabadde amanyi nti addayo ewuwe olw’ebyabadde biyitihhana era abamu baatandise n'okulaga emmotoka ekika kya X5 eyabadde emulindiridde okumuzza awaka!

Kanyamunyu eyabadde ku mpingu ne muganda we Joseph Kanyamunyu olwabayingizza kkooti , yasoose kugwa mu kifuba kya muganzi we Cynthia Muwangari (bwe bavunaanibwa okutta Kenneth Akena) n’abuuza ne ku behhanda obusungu ne bujula okutta abehhanda za Akena.

Mukyala wa Besigye, Winnie Byanyima bwe yayingidde kkooti ne baganda be Edith Byanyima ne Martha Byanyima, abehhanda z'omugenzi Kenneth Akena emitima ne gibeewanika era obwedda bamukubako eriiso ne bakoteka emitwe nga bwe bakuba akabonero n'okusoma ssappule.

Kkooti tetera kugaana muntu kweyimirirwa ssinga aba n'abantu ab'obuvunaanyizibwa abagikakasa nti bajja kumulagira okugenda ku kkooti buli lw’aba yeetaagiiddwa era bwe baaleese Winnie Byanyima, Kanyamunyu yabadde ng’aleese Dr. Kiiza Besigye okumweyimirira.

Okujja kwa Byanyima kaabadde ng’akabonero akalaga nti Kanyamunyu tadda Luzira era abamu obwedda bagamba nti, "Olaba asitudde abanene, kati ebya Kanyamunyu biwedde!

" Ensonga ze baawaddeyo okusaba okweyimirirwa nti bantu baabuvunaanyizibwa era bagondera amateeka nazo zaabadde za lusaago ezitamatiza naye nga okubeerawo kwa Byanyima kuzisaanikira .

Baakozesezza looya Abraham Mpumwire eyayamba owa poliisi DPC Aaron Baguma okweyimirirwa ku musango gw'obutemu nga mu October wa 2015, nga yaakamala wiiki emu yokka e Luzira .

Mpumwire yawaddeyo ensala y'omulamuzi Masalu Musene gye yasinziirako okuta Baguma (yadde nga naye yawaayo ensonga za lusaago) n’asaba omulamuzi Kabanda naye agyesigameko ate Kanyamuyu ne banne naye Omulamuzi Elizabeth Kabanda n’agaana okugigenderako.

Kyokka yadde omulamuzi Kabanda yagaanye okubata, buli muntu yakyewuunyizza! Bwe yawummuzza kkooti okumala essaawa 4, awandiike ensala ye abehhanda za Akena baayiikidde Byanyima nga bwe bamukaabira amaziga nti, "Tewandibadde ggwe kutulyamu lukwe ng’abaana baffe beewaayo okulwanirira balo Besigye ne basibwa abalala ne bafa, olw'okuba Kanyamunyu mutabani wo kati owaddeyo omwana waffe Akena abamutta bayineeyine!".

Ku ssaawa 11:30 omulamuzi Kabanda yabadde atandise okusoma ensala ye n’agamba nti okusinziira ku nsonga ze bamuwadde okusaba kwabwe akugaanye.

Abehhanda za Akena abamu tebaasoose kukikkiriza, baalabye bannaabwe kukuba nduulu mu kkooti nabo ne bagenderako nga bwe babuuza, omulamuzi agambye ki?

Ensonda ku kkooti zaatutegeezezza nti kituufu Kanyamunyu yabadde waakuteebwa addeyo eka naye waliwo abalamuzi abanene abaabiyingiddemu.

Ensobi ezaakoleddwa Okusaba kw'okweyimirirwa baakuteekayo nga January 19, 2017. Ng'akamu ku bukwakkulizo bw'okweyimirirwa olina okulaga wa gy'obeera nga kino okikola owaayo ebbaluwa okuva ewa ssentebe w'ekyalo gy’obeera ekakasa obutuuze bwo.

Joseph Kanyamunyu yawaayo ebbaluwa ekakasa nti mutuuze w’e Kiwafu B kyokka ng’ebbaluwa eno yawandiikibwa January 15, 2017 nga tebannaba kusaba kweyimirirwa.

Kino kyaleeseewo okubuusabuusa obutuufu bw’ebbaluwa eno era omulamuzi Kabanda yamugambye nti kino kiringa ekiraga nti yali amanyi nti agenda kuzza omusango n’asalawo okwetegeka nga bukyali.

Cynthia Munwangari ye yagambye nti mutuuze w’e Luzira naye si Munnayuganda.

Alina paasipooti bbiri, ey’e Rwanda ne Burundi nga zombi abadde azikozesa okufuluma n'okuyingira Uganda. Omulamuzi yagambye nti tasobola kukakasa nti Munwangari obutuuze bwe bw’ateekakasa ayinza okukomawo mu Uganda ssinga ebeera amutadde.

Abamu ku bantu abeeyimirirwa batera okuwaayo ensonga ez'omuggundu okugeza nga balina obulwadde obutasobola kujjanjjabibwa mu kkomera oba nga bakulu nnyo mu myaka ng’embeera y'ekkomera tebajja kugisobola naye ensonga za Kanyamunyu okuba nga bantu babuvunaanyizibwa zaabadde nnafu.

Bakyalina omukisa okuteebwa Mu nsala y'omulamuzi Kabanda yagambye nti awadde omukisa oludda oluwaabi okufundikira byonna bye bakola basobole okubasindika mu kkooti enkulu gye balina okuvunaanibwa nga January 17,2017.

Yagambye nti ssinga kino tekikolwa baddembe okukomawo mu kkooti ne baddamu okusaba okweyimirirwa. Bakyasobola n'okugenda mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ensala y'omulamuzi Kabanda era okusaba kwabwe ne kukkirizibwa .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu