TOP
  • Home
  • Agawano
  • 'Omuyindi yantigaatiga mu mbugo n'ankolako eby'ensonyi'

'Omuyindi yantigaatiga mu mbugo n'ankolako eby'ensonyi'

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2017

Bashir Lobo yabadde alina okulabikako mu kkooti e Nakawa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala erisooka e Nakawa, Carol Byakutagha Kabugo okuwulira omusango gw'okukabasanya Allen Nakityo.

Tolis 703x422

Nakityo. Ku ddyo ye Lobo

OMUYINDI akulira ettabi ly'essundiro ly'amafuta erya Shell ku Jinja Road okumpi ne Kitgum House talabiseeko mu kkooti okwewozaako ku musango ogumuvunaanibwa okukabasanya omukozi we.

Bashir Lobo yabadde alina okulabikako mu kkooti e Nakawa mu maaso g'omulamuzi w'eddaala erisooka e Nakawa, Carol Byakutagha Kabugo okuwulira omusango gw'okukabasanya Allen Nakityo.

Nakityo ng'ayita mu looya we Ambrose Tebyasa yawawaabira Bashir Lobo nti yamukabasanya mu 2014 nga kino yakikolera mu ofiisi ye esangibwa ku ssundiro ly'amafuta lino oluvannyuma lw'okumuyitanga buli kiseera mu ofiisi ye.

Nakityo alina akatambi ke yakwata nga Lobo amutigaatiga era kagenda kweyambisibwa ng'obujulizi.

Ategeeza nti, olw'ekikolwa kino yamuggulako omusango ku poliisi ya SIU e Kireka ne bamuggulako omusango ku fayiro nnamba 13/06/11/2015.

Oluvannyuma baategeeragana ne Lobo amuliyirire obukadde 20 kyokka baamuwaako 5,000,000/- mu kubanja ezaasigalayo baamuggulako omusango gw'okubulankanya ebintu bya kkampuni ya Shell.

Nakityo agamba nti oluvannyuma lw'okukabasanyizibwa obulamu bwe bwakyuka era ne bba yamulekawo.

Ayagala aliyirirwe

Looya wa Lobo, Richard Rwabogo agamba nti, Nakityo omusango guno yandigututte mu kkooti ya misango gya bibonerezo okusinziira ku mpaaba gye yasooka okukola okusinga okugutwala mu kkooti y'emisango gy'engassi era kkooti egugobe.

Kyokka ne looya wa Nakityo, Ambrose Tebyasa agamba nti tewali tteeka ligaana kufuula musango guno ogw'engassi.

Omulamuzi Byakutagha yategeezezza nti, waakusa ensala ye ku nsonga eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima