TOP

Omuliro gusaanyizzaawo obuyumba e Kagugube

By George Bukenya

Added 19th January 2017

OMULIRO gw'okeeza amayumba agakunukkiriza mu 30 e Kitamanyangamba ekisangibwa mu Muluka gwa Kagugube mu Kampala Central ne guleka abatuuze nga bemagazza olw'obutasigaza kantu.

Kagugube1 703x422

Abazimyamoto nga balwanagana n'omuliro

Bya GEORGE BUKENYA

OMULIRO gw'okeeza  amayumba agakunukkiriza mu 30 e Kitamanyangamba ekisangibwa mu Muluka gwa Kagugube mu Kampala Central  ne guleka abatuuze nga bemagazza olw'obutasigaza kantu.

Okusinziira ku ssentebe w'ekyalo  Darwin Ssebadduka, omuliro gwatandise ku ssaawa nga taano n'ekitundu ez'okumakya  era gw'okezza ennyumba nga  30 ssaako ebibanda bye mmere ne kya firimu.

Ssebadduka agambye nti kirabika omuliro gwavudde ku kimu ku bibanda mwe bafumbira emmere ebyambaawo.

Moses Mugenyi  omu ku batuuze ate nga ssentebe we kibiina kya NRM agamba nti omuliro nga gwa kabalukawo okutegeeza poliisi ezikiza  omuliro naye yaluddewo nga tenatuuka weetuukidde ng’amayumba ne bintu bingi bisaanyewo.

Ate bweyatuuse amazzi gaabaweddeko olwo omuliro negwongera okwokya ennyumba endala ng’ezzeeyo okunona amazzi.

Atwala Poliisi ya Kagugube, SP  Nicholas Muyonjo yategeezezza nti  bagenda kukola okunoonyereza basobole okuzuula omuliro kwe gwavudde.

Muyonjo yagambye nti abatuuze ba Kitamanyangamba bali mu mugotteko nga tebaalekawo makubo mmotoka weziyita okubatuukamu nti kino nakyo kyabakereyesezza okutakiriza omuliro okusasaana ennyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga