TOP

Fiizi zibuze eyafunye 4 mu PLE

By samuel tebuseeke

Added 25th January 2017

Edison Tendo Kakebe yasomera mu ssomero lya mbaawo erya Rhema Junior School Migadde mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso n'ebigezo bya PLE we yabituulidde n'afuna obubonero buna.

Edison1 703x422

Kakebe ng'akuba bbulooka. Emabega ye mwannyina Jovia Ndagire.

Bya SAMUEL TEBUSEEKE

Edison Tendo Kakebe yasomera mu ssomero lya mbaawo erya Rhema Junior School Migadde mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso n'ebigezo bya PLE we yabituulidde n'afuna obubonero buna.

Essomero lino ne ku kitundu baalikazaako 'Kabaawo' nga n'abaana basomera mu nfuufu.

Kitaawe w'omwana ono David Mubisi agamba nti, mutabani we yali tagenda kukola bibuuzo nga ssente 80,000/- eza fiizi zimubuze.

Agamba nti, omukulu w’essomero yamusalirako n'asasula 50,000/- kyokka nga nazo zaali zimubuze kubanga bbulooka ze yakuba yali abuliddwa enku ezizookya era kwe kusalawo okugamba omwana atuule awaka.

Ayongerako nti eky'okutuula awaka tekyasanyusa mwana ne basalawo okunoonya ettaka ku kyalo bakube bbulooka bafune 50,000/- ezaali zeetaagibwa ku fiizi.

Baafuna 30,000/- omwana n'addayo ku ssomero olwo kitaawe n'asigala ng'akuba bbulooka okufuna 20,000/- ezaali zisigaddeyo.

Mu kiseera kino yali esigaddeyo omwezi gumu okukola PLE.

Kakebe yategeezezza nti, mu kusooka yali aswala okukuba bbulooka olw’okutya banne okumuyeeya wabula kati takyabitya kubanga yakiraba nti mwavaamu ssente n'awona okutuula awaka.

Omulimu agukola ne bazadde be ne mwannyina asomba amazzi. Kakebe agamba nti, musanyufu olw’okuba nti yafunye obubonero 4 naye mweraliikirivu olw'okuba bazadde be tebalina ssente.

Desire Ssebuliba abadde omusomesa wa Kakebe yategeezezza nti omwana ono yava mu P3 ng'akola bulungi naye ng'atuuka kikeerezi ate nga bw'ayingira mu kibiina asumagira.

Ssebuliba agamba yamugamba nti, bakeera nnyo ne basooka bakuba bbulooka ne kitaawe nga banoonya fiizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde