TOP

Asibye bba lwa kulya fiizi z'abaana

By Eria Luyimbazi

Added 30th January 2017

OMUKAZI awawaabidde muganzi we ku poliisi ng’amulanga okugaana okuweerera abaana be n’okutunda poloti mwe baazimba ennyumba.

Soma 703x422

Ssenkabirwa eyaggaliddwa. Mu katono ye Nannyonga.

Aisha Nannyonga ye yawawaabidde eyali muganzi we, Javira Ssenkabirwa ku poliisi ya CPS n’akwatibwa.

Nannyonga yagambye nti, “Twatoba ffembi ne tusonda ssente okugula poloti mwe twazimba ennyumba wabula ne twawukana nga tufunye obutakkaanya era n’atandika okugaana okuweerera abaana.

Kyokka ne poloti agitunze, kati abaana bange bagenda kubeera wa? Nannyonga bwe yabuuzizza.

Yagambye nti bwe baayawukana yasalawo okugenda okukolera e Sudan ng’aweereza Ssenkabirwa ssente z’okuweerera abaana kyokka n’azizza mu birala kwe kusalawo okumuloopa ku poliisi.

Ku Mmande ku makya, Nannyonga yatutte abaserikale okuva ku poliisi ya Mini Price ne bakwata Ssenkabirwa eyabadde yaakatuuka ku mulimu w’atundira engatto mu kaggya ka paaka enkadde n’atwalibwa ku poliisi ya CPS gye yamuggulako omusango oguli ku fayiro SD: 52/25/01/2017. Ssenkabirwa yabyegaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.