TOP

Bamalaaya banyaze Abakongo mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2017

Yagambye nti poliisi eyinza okukwata ababeera bakubbye naye okuzuula bye bakunyazeeko kikyayinza okuba ekizibu nga n’oluusi ziba ssente ezitali nnyangu kuzuula.

Namuleme1 703x422

Namuleme

Bya ASHRAF KASIRYE

ABASAJJA babiri abaavudde e Congo okujja okusuubula ge bakaaba ge bakomba oluvannyuma lwa bamalaaya okubanyagako ssente.

Chance Bahati, 25 ne Christian Mubalama 27, baddukidde ku poliisi y’e Nakasero ebayambe nga balumiriza bamalaaya okubanyagako ddoola 300, Ush.200,000/- ne ssente za Congo mu kiro ekyakeesezza Mmande bwe baabadde batambula.

Bagamba nti baabadde batambula ku William Street omuwala gwe beetegerezza nga poliisi yamuzudde nti ye Prossy Namuleme 27 n’abasemberera era ekyaddiridde kwe kuduumira banne bwe baabadde bayimiridde ne babagwira omulundi gumu.

 

Mu ddaakika mbale baabadde bamaze okubanyaga.

Poliisi bwe yafunye amawulire yasitukiddemu n’egenda mu kifo kino n’ekwata Namuleme wabula ne yeegaana okubba Abakongo bano.

Bwe baamulemeddeko n’agamba nti, “Mu kiseera we babbidde abasajja bano saabaddewo nabadde ndaba mupiira ne muganzi wange gwe nneerabidde erinnya.

Nafulumye okweyamba mu lukuubo lwa loogi nga wano we nnasanze bamalaaya nga baganjambula abasajja bano era saabafuddeko ne nzirayo. Wabula nneewuunyizza poliisi okutuukira ku nze n’enkwata”.

Kyokka poliisi bwe yamutiisizza okumusiba n’akyusa sitatimenti n’agamba nti, “Nze ebyo ebisajja si bimanyi n’olulimi lwe byogera sirutegeera binneesibirako bwereere. Eyabibbye mulala. Ekyo ekimu kyabadde kinamuza ne ngaana kati kinneesibako mbu nakibbye. Nze nnabadde situnda nga bwe kyabadde kirowooza nnabadde nninze taata w’omwana wange ampe fiizi.”

Bahati yalumirizza Namuleme okumunyaga n’agamba nti yamulabye bulungi ng’aduumira bamalaaya abalala ne babasikako waleti n’okubakwata mu nsawo ne babaggyamu ssente zonna ze baabadde nazo.

Yasabye abaserikale bamuvunaane kubanga yabakomeza. Baabadde bazze kusuubula byuma bya mmotoka.

Akulira poliisi y’e Nakasero, Sylivia Mutume yagambye nti Namuleme bamaze okumuggulako omusango gw’obutemu ng’okukyusa sitetimenti tekimuggissaako musango.

N’agamba nti bagenda kutandika okuyigga bamalaaya abanyaga abantu naddala ku luguudo lwa Wiliam Street era n’alabula abatambula ekiro okwewala ebifo nga bino.

Yagambye nti poliisi eyinza okukwata ababeera bakubbye naye okuzuula bye bakunyazeeko kikyayinza okuba ekizibu nga n’oluusi ziba ssente ezitali nnyangu kuzuula.

Yasabye abasajja okwegendereza abawala abeefuula bamalaaya kyokka ng’ekigendererwa kyabwe kya kunyaga nga n’abamu basobola n’okubatuusaako obulabe nga baagala okubuza obujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...