TOP

Omwana eyabuzibwawo azuuse

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2017

Agamba nti ekiseera kyatuuse n’ayagala okudda eka kwe kugenda ewa jjajjaawe e Matugga we yali abeera.

Kiragga1 703x422

Lubulwa eyali abuziddwaawo (wakati) ng’ali ne bazadde be Luwagga ne Namuli ku poliisi e Wobulenzi.

Bya STEVEN KIRAGGA

ABAZADDE abaabulwako omwana baali bamanyi nti yasaddaakibwa. Wabula kyababuuseeko okumulaba ng’akomyewo, abamu gwe baayise omuzimu!

Wabula poliisi ekutte omukazi abadde abeera n’omwana ono eyali yabuzibwawo abantu abataategeerekeka ng’ava ku ssomero mu July wa 2014.

Yakomyewo Lwakubiri ku dduuka lya nnyina erya Hardware erisangibwa e Matugga.

Manvuwa Namawejje 68, ow’e Wobulenzi yakwatiddwa ng’avunaanibwa omusango gw’okubeera n’omwana ono eyawambibwa emyaka ebiri egiyise.

Wabula Manvuwa agamba nti omwana yaleetebwa mutabani we Haruna eyamuzuula n’amutegeeza nga bw’atalina bazadde n’abasaba okubeera nabo, nabo kye bakkiriza.

Agamba nti singa omwana yabategeeza amazima, tebandimaze bbanga ddene bwe lityo naye kuba abadde afuuse kitundu ku famire yaabwe era baafunye ekyekango okuzuukuka ku makya ng’omwana taliiwo.

Ono puleesa yamukubye bwe yategeezeddwa nga bw’alina omusango gw’okubeera n’omuntu mu ngeri emenya amateeka era yakkiriziddwa okweyimirwa ku kakalu ka poliisi asobole okuleeta mutabani we, Haruna ayambe poliisi okunoonyereza ku musango guno.

Emmanuel Lubulwa 16, ow’e Matugga ku kkumi n‘emu yali asoma P6 ku Sunrise Matugga nga yabuzibwawo nga July 13, 2014.

Bwe yatuuse mu maka ga jjajjaawe, we yali abeera yawuniikirizza abaasoose okumulaba nga bamuyita muzimu kuba baali bamanyi nti yasaddaakibwa.

Yatwaliddwa ku poliisi e Matugga omusango gw’okubula kwe gye gwaggulwawo era oluvannyuma baasindikiddwa ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kireka omusango gye gwatwalibwa mu 2014.

Bazadde b’omwana baasanze akaseera akazibu ku poliisi e Matugga ng’abamu ku batuuze babalumiriza okuwamba mutabani waabwe n’ekigendererwa ky’okusibisa abantu abaali tebakwatagana nabo.

Cissy Namuli nnyina w’omwana agamba nti ku lunaku Lubulwa lwe yabula yali aweereddwa 50,000/- azitwale okusasula fiizi ezaali zisigaddeyo ku ssomero kyokka baamulinda okudda nga talabika ne bagenda ne ku ssomero nayo nga taliiyo.

Agamba nti okuva olwo abadde tatereeranga nga n’ekiro agugumuka ng’alowooza nti yasaddaakibwa.

John Luwagga kitaawe wa Lubulwa agamba nti yabadde ali ku mirimu maama w’omwana n’amukubira essimu kwe kugenda alabe ogubadde kyokka kyamubuuseeko okulaba abantu abakungaanidde ku dduuka lya mukyala we nga bwe bajaganya olw’omwana okuzuuka.

Lubulwa agamba nti yava ku ssomero ku ssaawa nga 1:00 ey’akawungeezi okudda eka kyokka bwe yatuuka mu kafo akaziyivu, waliwo emmotoka ya buyonjo eyamusemberera n’evaamu abasajja babiri abaamuwamba.

Baamuvuga ne bamusuula mu kifo ky’ataategeera nga bwe bamukomekkereza obutadda mu kitundu w’abadde ng’alina okugenda mu kitundu ekirala gy’alina okutegeereza abantu nga bw’ali enfuuzi.

Agamba nti yakoma okutegeera ng’ali mu mmotoka ng’abasajja bamugamba ebigambo bino era agenda okuddamu okutegeera ng’ali mu kifo ky’atategeera.

Agamba nti eyamulonda ye Haruna eyamutwala mu maka ga nnyina e Wobulenzi mu Luweero.

Agamba nti ekiseera kyatuuse n’ayagala okudda eka kwe kugenda ewa jjajjaawe e Matugga we yali abeera.

Okubula kw’omwana kwakwasa abantu bangi nga mwe muli n’abako babiri ab’omu nju emu okuli Denis Mijunga ne Martin Kawalya nga bano bazadde b’omwana baabalumiriza okubaako kye bamanyi ku kubula kw’omwana.

Poliisi yatandise dda okuyigga Haruna eyalonda Lubulwa agiyambe mu kunoonyerezza balabe oba waliwo obujulizi obwekuusa ku basibe abali e Luzira ku musango ogwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.