TOP

Amasaza 16 gajeemedde ekiragiro kya Trump

By Musasi wa Bukedde

Added 31st January 2017

AMASAZA 16 mu Amerika gajeemedde ekiragiro kya Pulezidenti Donald Trump eky’okugaana abagwiira okuva mu nsi z’Abasiraamu musanvu okuyingira mu ggwanga eryo.

Trumpphone1 703x422

Trump mu ofiisi ye

WASHINGTON

AMASAZA 16 mu Amerika gajeemedde ekiragiro kya Pulezidenti Donald Trump eky’okugaana abagwiira okuva mu nsi z’Abasiraamu musanvu okuyingira mu ggwanga eryo.

Ekiragiro kya Trump kye yawadde ku Lwokusatu oluwedde kyaleeseewo akanyamberege ku Lwomukaaga abantu abasoba mu 370 okuva e Libya, Sudan, Somalia, Iraq, Iran, Syria ne Yemen bwe baakwatiddwa ku bisaawe by’ennyonnyi eby’enjawulo nga baakatuuka mu Amerika.

Waabaluseewo okwekalakaasa okw’amaanyi ku bisaawe eby’enjawulo ng’abantu baabulijjo n’ebibiina ebirwanirizi by’eddembe ly’obuntu bavumirira ekiragiro kya Trump kye baayise eky’obusosoze mu mawanga n’eddiini.

Omulamuzi atasibazikweya, Ann Marie Donnelly, owa kkooti ya Eastern District of New York ye yakkakkanyizza embeera bwe yayimirizza okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Trump olwo embeera n’ebeera ng’edda mu nteeko.

Donnelly yayimirizza enteekateeka yonna okutikka abaakwatiddwa okubazza ku butaka bwabwe e Sudan, Somalia, Libya, Iraq, Iran, Syria ne Yemen okutuusa ng’omusango ogwawawaabiddwa ekibiina ekya American Civil Liberties Union (ACLU) gumaze okuwulirwa. Aba ACLU baawaabye omusango nga baagala ekiragiro kya Trump kisazibwemu.

Oluvannyuma lw’omulamuzi Donnelly okuwa ensala ye ku Lwomukaaga akawungeezi, amasaza 16 gaalangiridde ku Mmande nti gagenda kussa mu nkola ensala eyo.

Amasaza agaajeemedde Trump ye; California, New York, Pennsylvania, Washington, Massachusetts, Hawaii, Virginia, Vermont, Oregon, Connecticut, New Mexico, Iowa, Maine, Maryland, Illinois n’ekibuga ekikulu ekya Amerika ekya Washington District of Columbia.

Ba Ssaabawolereza ab’amasaza ago, baatadde omukono ku kiwandiiko ekyawamu nga beeyama nti tewali mugwiira oba musiraamu okuva e Libya, Sudan, Somalia, Iraq, Iran, Syria ne Yemen gwe bagenda kugaana kuyingira mu masaza kasita abeera ng’alina ebiwandiiko ebimukkiriza okuyingira mu Amerika.

Kyokka Trump yagambye nti, musanyufu nti ekiragiro kye kyakoze nga bwe yabadde ayagala n’ategeeza nti talina kye yejjusa okutangira abatujju okuyingira mu Amerika.

  ABA REPUBLICAN BATANDISE OKWABULIRA TRUMP

Ekiragiro Pulezidenti Trump kye yawadde okugaana Abasiraamu abamu okuyingira mu Amerika kireeseewo olukonko olw’amaanyi wakati wa Trump n’ababaka ba Palamenti ab’ekibiina kya Republican.

We bwazibidde ku Mmande nga bannakibiina abasoba mu 20 bavuddeyo ne beesamba Trump nti by’akola bo tebabikkiririzaamu kubanga bikontana n’emiramwa gy’ekibiina n’eggwanga.

Ababaka aba palamenti eyitibwa Senate okuli, John McCain, Lindsey Olin Graham, Mitch Mc-Connell, Rob Portman, Tim Scott, Marco Rubio ne Mike Lee be basoose okuvaayo mu lujjudde ne bagugumbula Trump.

Beegattiddwaako ababaka ab’enjawulo okuva mu Palamenti eya House of Representatives abaagambye nti obwa Pulezidenti bwa Trump bwolekedde okutemaatemamu Amerika n’okugisikuulira entalo.

OBUKYAYI KU TRUMP BWEYONGEDDE:

Okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekya Gallup kwalaze nti Bannansi ba Amerika ebitundu 51 ku 100 balowooza nti Pulezidenti Trump by’akola tabitegeera era tasaanidde kuba Pulezidenti wa Amerika.

Ekitongole kya Gallup kyafulumizza okunoonyereza kwakyo eggulo ku Mmande nga waakayita ennaku nnya nga Trump awadde ekiragiro ekiwera Abasiraamu okuva mu mawanga musanvu, Trump galumiriza nti ge gasinga okuvaamu Abasiraamu abatujju.

Wabula Abamerika ebitundu 42 ku 100 abeetabye mu kunoonyereza okwa Gallup baawagidde Trump nti kyakola kituufu, era bali mabega we mu kugogola Amerika.

Trump yataddewo ekyafaayo nga Pulezidenti wa Amerika asoose okuyingira ofiisi ey’Obwapulezidenti nga bannansi ba Amerika abasinga obungi bamuwanda lulusu, tebamwagala, tebamulinaamu bwesige era bamwekokkola.

TRUMP TALINNYA WANO - ABANGEREZA

Bannansi ba Bungereza batandise kampeyini ey’okussa akazito ku gavumenti ya Katikkiro May Theresa obutakkiriza Trump kukyala mu ggwanga eryo kubanga ssinga akyala mu Bungereza, ajja kuswazaswaza Kwiini.

We bwazibidde eggulo, nga bannansi ba Bungereza abasoba mu kakadde kamu batadde omukono ku kiwandiiko ekisaba Trump okugaanibwa okukyala mu Bungereza.

Ekiwandiiko kyassiddwaako emikono gya bannabyabufuzi okwabadde ne Jeremy Corbyn, akulira oludda oluvuganya mu Bungereza.

Kyokka ofiisi ya Katikkiro wa Bungereza yategeezezza nti okukyala kwa Trump tekuyinza kusazibwamu .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Kip2 220x290

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako...

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Full1 220x290

Abawagizi ba Kenzo beesunga kumwaniriza...

ABAWAGIZI ba Eddy Kenzo ab'omunda, leero basiibye beetala nga beetegekera okumwaniriza.

Blackwomancrying 220x290

Embeera ezireetera omukazi okuyungula...

Abakazi abo tobalaba kukaaba nga bali mu kikolwa n'olowooza nti beekaabya! Nedda, oluusi baba mu bulumi olw'embeera...