TOP

Baabano ababbira ku nnyanja ya Kabaka

By Vivien Nakitende

Added 31st January 2017

Lipoota ya poliisi eraze nti omwaka oguwedde, abantu 20 be baasangiddwa nga bafiiridde mu nnyanja ya Kabaka.

Nnyanjayakabaka1 703x422

Abavubuka abatigomya abantu ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba nga bali ku poliisi y’e Kabowa.

 Bya VIVIEN NAKITENDE

POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde ababbi 19 abateegera ku nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba ne banyaga abantu.

Ekwatiddemu eyeeyita Black Jesus, omu ku babbi ab’omutawaana abatigomya Ndeeba ne Katwe.

Abakwate kuliko; Arafa Nyanzi, Bashir Katende, Isma Kalema, Ezira Wambayo, Ali Mulindwa, Siraje Kato, Kalule, Alan Jjunju, Paul Jjuuko eyeeyita Black Jesus, Tonny Kaggwa, Charles Kikaawa, Linika Ssekatawa, Peter Kabaseke, Tonny Ssebulime, Diriisa Kayongo n’abalala.

 bomu deeba nga bakungaanidde ku nnyanja okubbululayo omulambo gye buvuddeko Ab’omu Ndeeba nga bakungaanidde ku nnyanja okubbululayo omulambo gye buvuddeko.

 

 

Atwala ebyokwerinda mu muluka gwa Ndeeba, Ibrahim Nsubuga agamba nti, abavubuka bano batuula mabega wa wooteeri ya Pope Paul ku nnyanja ya Kabaka ne banywa enjaga n’okukola pulaani z’ennumba zaabwe ez’obubbi.

Bonna bagguddwaako emisango ku fayiro SD:36/11/01/17.

EMIRAMBO 20 MU NNYANJA

Lipoota ya poliisi eraze nti omwaka oguwedde, abantu 20 be baasangiddwa nga bafiiridde mu nnyanja ya Kabaka.

Atwala ebyokwerinda mu muluka gwa Ndeeba, Ibrabim Nsubuga agamba nti ku bano kuliko abattibwa ne basuulibwamu ate abalala baaguddemu bugwi.

Abamu ku basangiddwa nga bafiiridde mu nnyanja kuliko Fred Ssali eyali ssentebe wa siteegi y’e Kibuli mu paaka enkadde, Deo Munanyezi 40, Dennis Ssengendo eyali omusuubuzi wa sipeeya mu Ndeeba n’abalala.

Edirisa Lwanga kansala wa Ndeeba II ku munisipaali e Lubaga era omuwandiisi wa zooni ya Mutaawe mu Ndeeba, agamba; ebyokwerinda mu Ndeeba bibulamu n’asaba poliisi eyongeremu amaanyi ate n’abakwatiddwa bakangavvulwe, abalala bayige.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.