TOP

Omujaasi akubye ababbi amasasi, omu afudde

By Musasi wa Bukedde

Added 4th February 2017

Omujaasi akubye ababbi amasasi, omu afudde

Hu1 703x422

Omulambo gwa Kayemba nga guteekebwa ku kabangali ya poliisi.

Omukuumi wa kapiteeni mu ggye lya UPDF akubye omubbi amasasi agamuttiddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano. Bino byabadde Kisugu - Namuwongo mu Makindye. Omubbi omulala yaggyiddwaawo ng’aliko kikuba mukono.

Omugenzi, amasasi gaamukubiddwa mu mugongo. Eyattiddwa yategeerekeseeko lya Kayemba, kyokka teyasangiddwa na kiwandiiko kyonna kimwogerako. Kayemba ne munne baasangiddwa n’amajambiya amawagale era nti baasookedde mu kikomera kya Kapiteeni Mike Kugonza ng’ono y’akuuma Kapiteeni Simon Atiku.

Kugonza yakubye Kayemba amasasi n’afiira mu kikomera kya baliraanwa Abachina. Ate munne, Hussein Walugembe 28, yasigaddeko kikuba mukono.

Abatuuze baawuniikiridde okulaba ng’ababbi baana ba ku kyalo! Abatuuze baategeezezza nti ne bazadde ba Kayemba baabattira mu bubbi.

Bano baggyiddwaawo poliisi y’e Kisugu ne Kabalagala ne bateekebwa ku kabangali n’ebizibiti byabwe okwabadde essigiri, amajambiya n’ebirala, ne batwalibwa e Mulago ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Wabula poliisi terina kye yayogedde ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Otya1 220x290

Rev. bamufuuye ssente eby'okuyimba...

REV. George Nninya Kawuma ow'e Kawempe bamufuye ssente eby’okuyimba n'abivaako n'adda mu kukung'aanya ssente.

Kenzo 220x290

Kenzo alayidde obutaddamu kuyimbira...

Muzaata bwataneetondera sidda ku siteegi-Kenzo

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream