TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Heedimisituleesi w’e Namungongo bamuziise mu kwaziirana

Heedimisituleesi w’e Namungongo bamuziise mu kwaziirana

By Lawrence Kitatta

Added 20th February 2017

FRANCIS Xavier Ssekweyama ebigambo byamubuze mu kuziika mukyala we, Agnes Nakabugo abadde omukulu w’essomero lya Namugongo Girls.

Nakabugo1 703x422

Omugenzi Nakabugo ku mbaga ye ne Ssekweyama

Bya LAWRENCE KITATTA

FRANCIS Xavier Ssekweyama ebigambo byamubuze mu kuziika mukyala we, Agnes Nakabugo abadde omukulu w’essomero lya Namugongo Girls.

Bwe yasituse okwogera yagambye nti, “Nakabugo mukwano gwange, ku bakyala 1,000 kuliko Nakabugo omu, olaba mmwe abadde abayisa bwatyo mulowooza nze abadde ampisa atya?” .

Bino bye bigambo byokka Ssekweyama bye yayogedde ng’asiibula mukyala we era olwabimaze n’akaaba.

 basiisita be ogonya akabugo gye yasomera nga baganzika ekimuli ku ssanduuko ye mu kusaba okwakulembedde okuziika mu lezia ye pereerwe Abasiisita b’e Gogonya Nakabugo gye yasomera nga baganzika ekimuli ku ssanduuko ye mu kusaba okwakulembedde okuziika mu Klezia y’e Mpereerwe

 

Obwedda Capt. Francis Babu y’amukutte ng’aboogezi ab’enjawulo obwedda boogera Ssekweyama amaziga gamuyitamu.

Maama w’omugezi, Josephine Nakaggwa Mugerwa yagumizza mutabani we Ssekweyama nga bw’atasaanye kuggwamu maanyi kuba Nakabugo abadde amutwala ng’omwana nga ne Ssekweyama naye amuyisa kye kimu n’olwekyo bombi basigadde nga bamulekwa nga balina okuba obumu mu kaseera kano akazibu.

Kalidinaali yatenderezza Nakabugo olw’okuba omukozi n’agamba nti abadde mukyala atali mwangu kusanga.

Okusabira Nakabugo kwetabiddwaako bafaaza abaasobye mu 30 n’abasiisita, abakungu okuva mu Gavumenti, e Mmengo ne disitulikiti y’e Wakiso.

aama womugenzi mu ggomesi eya kyenvu nabooluganda mu kuziika akati mu gaalubindi ye argaret ziwa muganda womugenziMaama w’omugenzi (mu ggomesi eya kyenvu) n’abooluganda mu kuziika. Wakati mu gaalubindi ye Margaret Zziwa muganda w’omugenzi.

 

Nakabugo yaani?

Nakabugo yazaalibwa omugenzi Charles Mugerwa Nakabaale ne Josephine Mugerwa Nakaggwa omusomesa ow’e Mpereewe Nammere mu 1963.

Muwala owookubiri mu famire nga yadda ku Margaret Nantongo Zziwa omubaka wa Uganda mu Palamenti y’Obuvanjuba bwa Afrika.

Nnasale yagisomera ewa mukyala Semaka emu ku nnasale ezaasooka mu Nammere gye yava okugenda ku Jinja Kalooli gye yasomera okuva mu P1 okutuuka P7.

Siniya yagisomera ku St. Mary’s Bethania Girls SS gye yava okugenda mu Yunivasite e Makerere.

 bayizi ba amugongo irls mu kuziika abadde omukulu wessomero lyabwe Abayizi ba Namugongo Girls mu kuziika abadde omukulu w’essomero lyabwe.

 

Yafuna diguli esooka mu busomesa, eyookubiri mu kikula ky’abantu n’ey’okusatu mu bukulembeze.

Yaliko omukulu w’essomero lya St. Kizito Bethania Girls Primary School, omumyuka w’omukulu w’essomero lya Trinity College Nabbingo ng’eno Kalidinaali Wamala gye yamuggya mu 1998 n’amufuula omukulu w’essomero lya Namugongo Girls, obukulu bw’abaddeko okutuusa bw’afudde.

Nakabugo abadde nnannyini ssomero lya St. Mary’s College Migadde, ng’azimbayo amaka ne faamu.

Yaliko omusiisita okumala emyaka 10,ng’ekiragaano ekisooka kyali kya mwaka gumu,

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...