TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Namusoke owa Golden Band yadduka n’olubuto lwange’

‘Namusoke owa Golden Band yadduka n’olubuto lwange’

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2017

Diana Namusoke alese abaana basatu ng’omu wa Luyima okusinziira ku Kakooza wabula ate waliwo omusajja eyavuddeyo n’agamba nti omu ku baana abasigadde wuwe.

Menya1 703x422

Kiweewa. Ku ddyo ye mugenzi Namusoke

Diana Namusoke alese abaana basatu ng’omu wa Luyima okusinziira ku Kakooza wabula ate waliwo omusajja eyavuddeyo n’agamba nti omu ku baana abasigadde wuwe.

Kiweewa by’agamba: Nze Mulangira Kiweewa mbeera Lyantonde era ndi mukubi wa bifaananyi.

Nanyoleddwa bwe nawulidde amawulire ag’ekikangabwa ky’eyaliko muganzi wange, Diana Namusoke.

Naliko mu mukwano naye mu mwaka gwa 2007 bwe yali akyali mu kyalo ewa jjajjaawe e Katovu mu Lwengo.

Omugenzi yambulako mu kiro kimu kye namusuza mu loogi erinaanye amaka gange mu kabuga k’e Lyantonde oluvannyuma lwa mukyala wange okutukwata lubona mu loogi.

Nsuubira nti Namusoke yatya era teyadda wabula yagenda n’olubuto lwange kubanga yaluhhamba naye saamanya byaddirira ku mwana kubanga amasimu ge nnali mmanyi nga tegaliiko.

Nsaba akulira Golden Band annyambe nfune omwana wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Gugu 220x290

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu