TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababazzi ba kofini bavumiridde ekya Poliisi okukwata bannabwe ewa Kakande

Ababazzi ba kofini bavumiridde ekya Poliisi okukwata bannabwe ewa Kakande

By Moses Lemisa

Added 23rd February 2017

ABASUUBUZI ba sanduuko z'abafu ku nkulungo y'oku biri bavumiridde poliisi okukwata banaabwe ababadde balaga obutali bumativu ku ngeri Nabbi Kakadde gye yazibamu amakkubo agatwala amazzi ng'e nkuba etonye ekyaviriddeko emaali yaabwe okwonooneka.

Sanduuke1 703x422

Sanduuke ezassuuliddwa ku kkanisa ya Nabbi Kakande

BYA MOSES LEMISA

ABASUUBUZI   ba sanduuko z'abafu ku nkulungo y'oku biri  bavumiridde poliisi  okukwata banaabwe  ababadde balaga obutali bumativu ku ngeri Nabbi Kakadde gye yazibamu  amakkubo agatwala  amazzi ng'e nkuba etonye  ekyaviriddeko emaali yaabwe okwonooneka.  

Kino kyaddiridde enkuba eyatonye mu kiro ekyakesezza ku Lwokusatu ne yingira mu bifo abasuubuzi we batereka Sanduuko z'abafu n'ebikozesebwa okukakana ng'ebisinga by'onoonekedde mu mazzi , embeera eno yawalirizza abasuubuzi okwekalakasa ne basitula Sanduuko z'abafu ne baziteeka mu maaso ng'ekkanisa ya Nabbi Kakadde ,okwekalakasa bwe kwanyinyitidde poliisi ye Wandegeya yaitiddwa abasirikale ne batandiika okukuba abasuubuzi saako n'okukwatako abamu .

 mazzi nga gayanjadde mu kifo ababazzi webakolera Amazzi nga gayanjadde mu kifo ababazzi webakolera

 

Nabbi Kakadde yagula ekifo ekiri okumpi n'ebibanda bya Keesi z'abafu nayerunalawo ng'abasuubuzi bagamba nti teyasaawo mifuleje gitwala mazzi .    

Cissy  Nalukwango  omu batunda Sanduuko   yategeezezza nti  Poliisi ky'ekoze okukwata banaabwe kiraze nti omunaku tasinga musango kuba amazzi g'eraga nti Nabbi Kakadde yakikozesa Fujjo okuziba amakkubo agatwala amazzi , yagasseko nti bizinensi yabadde yakayongeramu ssente ezisoba mu kakadde kamu n'ekitundu kyokka yagenze okukeera ku makya nga Sanduuko 13 z'onooneddwa amazzi ekitabangawo  ate ezibadde zisigaddewo ng'enamu poliisi ezitadde ku mmotoka n'ezitwala.    

 bamu ku basuubuzi abaakwatiddwa Abamu ku basuubuzi abaakwatiddwa

 

 

AB'EKANNISA BOOGEDDE  

Omusumba Jimmy Luuka okuva mu kkanisa ya Nabbi Kakadde yategeezezza nti ensonga bagimanyiko era ng'ekkanisa baali bakirizza okugula ebikozesebwa KCCA eddabirize omwala kuba gukunganya amazzi okuva , e Makerere , Katanga n'awalala ng'ensonga eno abaasuubuzi baagigaana , yagasseko nti Nabbi Kakadde yeyamye okukola ku nsonga eno eruma abasuubuzi .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye