TOP

Omuyimbi wa Golden Band bba awakanya okumuziika

By Josephat Sseguya

Added 23rd February 2017

Namusoke eyafiiridde ku Mirembe Clinic e Najjanankumbi ku Lwokubiri, waliwo abalumiriza okumuloga ettalo.

Diana1 703x422

Omugenzi Diana Namusoke

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

BBA w’omuyimbi wa Golden Band, Diana Namusoke agaanye okumuziika nga tannatuuka kubanga n’omwana we eyafa mu ngeri etaategeerekeka era teyamuziika.

Enock Luyima akolera e South Afrika, ye yalemesezza okuziika okwabadde kulina okubaawo eggulo kyokka n’ategeeza ab’enganda bamulinde abeewo aziike ku mukazi we.

 maka ga amusoke e seguku  atale mukwano gwe galumiriza okusimbibwamu eddogo Amaka ga Namusoke e Sseguku - Katale, mukwano gwe g’alumiriza okusimbibwamu eddogo.

 

Namusoke n’ebizibu bye

Omu ku mikwano gye, Allen Kakooza bwe baali bayimba mu Matende Promoted Singers agamba nti Namusoke abadde atubidde mu ntalo z’abenganda ba bba n’amalogo nga w’afiiridde abadde ali mu kutaasa bulamu bwe n’abaana obudde bwonna.

Mikwano gya Namusoke gigamba nti, omuyimbi oyo tafunye ku ssanyu okuva lwe yagenda mu kibiina kya Eagles Productions n’avaayo nga bamugaanye okulinnya ku siteegi n’asigaza kubeera muzinyi na kuyambako abayimbi abanene ng’entabwe, eva ku bawala abaalimu obutayagala kuyimba kubasinga n’okubatwalira baganzi baabwe mu bbandi!

Awo we yava okugenda mu Matendo Promoted Singers eya Fred Ssebatta n’akwatagana ne kazannyirizi Disan Kasasa eyamukolera ennyimba omwali Sirikyusa ne Honda ezaakwatayo Ssebatta n’amussa ku siteegi abantu ne bamulaba.

 

Eddogo wakati wa Ssebatta ne Eagles

Mu budde obwo obutakwatagana bwa Eagles ne Ssebatta olw’eddogo byasukka okutabuka ekyavaako abaali badayirekita ba Eagles okumusikiriza ave mu Matendo olw’okwewala okwasizaayo ebyama byabwe ew’omuntu gwe bayita omulogo.

Bbandi zombi nga teziyimbira ku siteegi emu ng’aba Eagles balumiriza Ssebatta okubaloga kyokka nga ye abayita batabani be abalowoolereza mu by’eddogo.

Ssebatta yakuba n’oluyimba lwa Teriba ddogo ng’akubiriza abantu obutabirowoolerezaamu. Namusoke bwe yadda mu Eagles n’akola ennyimba omuli ne Co-Driver.

Mu March wa 2014 yagenda mu Golden Band nga Eagles esasise.

Alina ennyimba endala omuli Okuva lwe nava e Buddu olwamuweebwa omugenzi Ali Yawe.

Yafudde ki?

Maneja wa Golden band, Musa Kavuma (KT) yategeezezza nti, Namusoke bazze bamujjanjaba okutuusa lwe yabalemeredde nga wiiki essatu ezisembyeyo abadde bubi nnyo.

Abadde atawaanyizibwa okugulu okuzimba nga bwe kukka wabula ne bakizuula nti abadde ne kookolo naye ng’ekyo kyazuulibwa buyise nga tewakyali kya maanyi kya kuzza.

Ettalo

Namusoke eyafiiridde ku Mirembe Clinic e Najjanankumbi ku Lwokubiri, waliwo abalumiriza okumuloga ettalo.

Muno mwe muli ne mukwano gwe ennyo Kizito Ongom (Kasumaali) eyawakanyizza endwadde ab’engambo ze bazunza okumutta nga n’ezimu tezoogerekeka kyokka ye n’agamba nti, akakasa nga ttalo okusinziira ku kugulu bwe kubadde kuzimba.

Entalo z’eddogo z’alwanye

Omu ku bayimbi banne bwe baali mu Matendo, Allen Kakooza ng’ono ye yayimba Buugi mu bbaala, Vanilla, Ekisaakaate n’endala agamba nti, waliwo oluyimba Namusoke lwe yalese mu situdiyo lwe bayita Omukyala Naalya nga lwogera ku b’enkwe b’alumiriza okumuttira omwana ow’emyezi obwezi.

Kakooza agamba nti, waliwo abamu ku b’enganda za bba abataasanyuka ng’amuganzizza nga kiteeberezebwa nti ye gw’asindikira ssente.

Kakooza anyumya bw’ati; N’ennyumba bba gye yamuzimbira e Katale, waliwo omu gwe baalaba ng’agisimbamu eddagala mu mulyango kyokka Namusoke naye abadde yeetambulirako nga yasalawo okwagala bba n’ennyumba okugibeeramu.

Bagamba nti omugenzi yamala emyezi 10 ng’ali lubuto abalowooleza mu ddogo kye bawanuuza nti bayinza okuba nga baalumisibirako.

Namusoke bwe yazaala omwana waayitawo ekiseera kitono naafa kyokka bba teyaziika.

Bba wano we yasinzidde n’asaba bamulinde asobole okuziika ku mukazi we.

Bba yabadde asuubirwa okutuuka akawungeezi k’eggulo olwo okuziika kubeerewo leero e Kyamuganga–Mateete mu ssaza ly’e Mawogola mu disitulikiti y’e Ssembabule.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...