Bya Phiona Nannyomo
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi alaze okutya alw’abalimi abatundira ebirime byabwe ku nnimiro n'agamba nti embeera eno yeviriddeko ebirime okwekanama ebbeeyi.
Minisita Gume Frederick Ngobi ategeezezza nti abasuubuzi abagula ebirime by’abalimi mu nnimiro babibagulako layisi kyokka bbo ne babitunda ku bbeeyi ey’obuseere kyagambye nti kino kibeera kifiiriza abalimi obutitimbe bw’ensimbi.
Gume era agasseeko ng'embeera eno bweretedde abalimi okukaaba obwavu entakera n'abamu ne batuuka okubulwa ekigulira ensimbi ezibayimirizaawo
Okwogera bino Gume abadde asisinkanye abalimi b’e Bukomansimbi n'ekigendererwa ky'okubakalaatira okwenyigira mu bibiina by’obwegassi basobole okwekulaakulanya.
Ono agambye nti singa abalimi bano benyigira mu bibiina by’obwegasi kino kyakuyamba abalimi bangi okuganyurwamu kko n’okwenyumirizza mu bulimi.
“Ssinga munenyigira mu bibiina by’obwegassi mugenda kuganyurwamu nnyo kubanga ebirime byamwe byakufuna akatale naddala wa bweru w’eggwanga”Gume bwategeezezza.
Ye minisita wa bavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi annyonnyodde nga bbo abakulembeze bwebasazeewo buli ggombolola okukola ekibiina ky’obwegassi nga muno mwemuli Kitanda,Bigasa,Bukomansimbi town council n'amalala nga kino kyakuyambako okulwanyisa obwavu wamu n’ebbula ly’emirimu mu bavubuka.
Nakiwala agambye nti singa bannaBukomansimbi bekolamu ebibiina by’obwegasi kyakubayambako okukola Banka y’abalimi nga eno egyakubayamba okwewola ku ssente ezegasa.
Wabula abalimi baloopedde ba minisita zi kampuni ezibaguza eddagala wamu n’ebigimusa ebikozesebwa mu kulima ebitatuukanye namutindo nga kino kye kiviriddeko eby’obulimi okusebengerera mu kitundu kyabwe.
Bano bawanjagidde bekikwatako okuteka amateeka amakakali eri ababaguzza ebikozesebwa bino kibasobozese okwenyumiriza mu mulimu gwabwe.
Omusomo guno gwetabiddwako abakulembeze ba disitulikiti ye Bukomansimbi omuli ababaka ba palamenti,abakulira eby’obulimi n’obulunzi wamu n’ab’eby’okwerinda mu kitundu kino.