TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omukungu wa Ssaabasajja akubye embaga Katikkiro n'amusibira entanda

Omukungu wa Ssaabasajja akubye embaga Katikkiro n'amusibira entanda

By Dickson Kulumba

Added 27th February 2017

Omukungu wa Ssaabasajja akubye embaga Katikkiro n'amusibira entanda

Man1 703x422

David Lule Muzzanganda ng'li ne Katikkiro ku lutikko e Namirembe

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asomozezza abateekateeka okugattibwa obutakikola olwokuba baagala kusamba ku kadaali oba okugendako mu Lutikko wabula bakimanye nti ako kabonero akalaga omuntu akuze era ow'obuvunanyizibwa.

Bino yabyogeredde ku Lutikko e Namirembe ku Ssande February 26,2017 ku mukolo Omukungu wa Buganda Twezimbe atwala Bulemeezi ne Buluuli,David Lule Muzzanganda mu nsonga z’Ettofaali bwe yabadde agattibwa ne munne Allen Nazimuli.

Mayiga eyawerekeddwako Minisita Omubeezi ow’ebyenjigiriza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma yagambye nti " Atannaba kufuna bufumbo tewabeera amwesiga oba amuzza mu kyama kyokka n'Obwaami edda nga kizibu okubufuna naye bulijjo nkimanyi nti okyalina okutuuka ku kkula lino era kirungi nti okituseeko."

Ono yeebazizza Omukungu wa Buganda Twezimbe ow'okusatu okutukuza obufumbo nga yegasse ku Evaristo Seguya ne Vicent Kagambo.

Omukolo guno gwakulembeddwamu Omulabirizi w'e Mityana George Ssinnabulya n'asaba abafumbo bonna okwekwata empisa y'okusonyiwagana kubanga kikola kinene mu kubeerawo kw'obufumbo.

Bp Ssinnabulya yagambye nti “ Obufumbo obutukuvu kirabo ekiva eri Katonda era yekka yakirinako obuyinza n’olwekyo mulina okumwekwata mu byonna bye mukola okusobola okutambuza obufumbo bwamwe ng’abantu abatya Katonda.”

Lule Muzzanganda mutabani wa Muzeeyi Mutyaba e Wobulenzi, mpagi luwagga mu mirimu gy’essaza ly’e Bulemeezi ate Munnakibiina kya DP nga yavuganya ku bubaka bwa Palamenti okukiikirira Katikamu South.

Abagenyi abaakulembeddwamu Omutaka Grace Ssemakula Nduggwa, Eyaliko Pulezidenti wa DP Paul Kawanga Ssemwogerere, John Kiyimba Freeman-akulira Buganda Twezimbe, Kang'aawo Freddie Ntege Ssekamere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke