TOP

Eddwaliro ly'e Kitebi liri "bubi"

By Vivien Nakitende

Added 27th February 2017

ABASAWO n'abalwadde mu ddwaaliro e Kitebi bakaaba lwa ddwaaliro butaba na ddagala wamu n'ebikozesebwa, ekireetera emirimu okutambula akasoobo.

Katokitebi 703x422

Omubaka Kato Lubwama ngayogerako eri abalwadde ku ddwaliroe Kitebi. Abamuddiridde bakansala.

 Bya VIVIEN NAKITENDE

ABASAWO n'abalwadde mu ddwaaliro e Kitebi bakaaba lwa ddwaaliro butaba na ddagala wamu n'ebikozesebwa,  ekireetera emirimu okutambula akasoobo.  

Bino baabittottoledde abakulembeze mu  munisipaali y'e Lubaga okubadde;  Rose Mary Kigozi omubaka omukyala ow'omuluka gw'e Mutundwe, Juma Lubega kansala w'omluka gwa Kabowa I, Musa Lusembo kansala wa Ndeeba, baabadde bakulembeddwa omubaka wa palamenti owa  Lubaga South , Paul Kato Lubwama,  bwe bagenzeeyo okulambula eddwaaliro okulaba embeera y'abalwadde , n'abasawo mwebakolera.  

Eno abalwadde n'abasawo baloopedde abakulembeze ebizibu ebiri mu ddwaaliro lino omuli; abasawo okutuuka ekikeerezi ku mulimu ne babalwisa, obutebe okutuulibwa abalwadde okubeera obutono ennyo abamu batuula wansi, ebitanda by'abakyala abazadde bitono nnyo biri 16 ate ng'abazaala olunaku tebakka wansi wa 30,  sikaani oba ka TV babasasuza ssente, eddagala ly'abalwadde ba kawuka ka siriimu lyabuze, abalwadde bangi nnyo ate nga webabakolerako watono tewabamala,  abasawo batono mu ddwaaliro, tewali genereeta  eyambako ng'amasannyalaze gavuddeko naddala mu waadi y'abakyala abazadde,  abasawo balina batono ddala ate abalwadde bangi nnyo, abalwadde okubba eddagala,  abasawo obutaba na mayumba kumpi na ddwaaliro, abakozi obutafiibwako nga bafunidde obuzibu ku mulimu n'ebirala.

Musawo Irene Nabukwasi, akulira eddwaaliro ly'e Kitebi ategeezezza nti; kituufu eddagala mu ddwaaliro  tewali,  naye nga kino kiva ku bajeti yaffe etuweebwa okubeera entono ennyo, ffe tubabalira omuwendo n'eddagala lyetwetaaga mu ddwaaliro, naye nebatuwa eddagala lya bukadde mukaaga bwokka mu kwota y'omwaka.

Lino bwetulifuna liggwawo mu wiiki emu oba bbiri ezisooka,  olwo ebbanga erisigadde ery'emyezi esatu  tetubeera na ddagala, abalwadde tubakebera netubawandiikira buwandiikizi ddagala, naye nga naffe ssi kwagala kwaffe wabula tetulina kya kukola.

 Ate abalwadde nabo beenyigira mu kubba eddagala nga balinona emirundi egisukka mu gumu mu ddwaaliro ne balitunda.

Omubaka wa palamenti owa Lubaga South Paul Kato Lubwama agambye nti;  tetunenya basawo olw'embeera eriwo,  kubanga tukizudde nti bageti  yaabwe ntono nnyo, bakola ku bantu Bangi okuva mu bitundu eby'enjawulo ssi Kitebi yokka,  wabula Kampala yenna n'abamu bava e Wakiso.

 Ngenda kufuba okuleeta ebiteeso tulabe nga bageti yaabwe eyongera okulinnya waakiri  etuuke ku bukadde 30 bwebagamba oba okusingawo buli kwota y'omwaka.

Tugenda kwogera n'abantu abali mu kitundu nga beesobola,  baveeyo nabo bayambeko ku bimu.  

Abakulembeze abalala nabo beeyamye okubaako kyebakola mu biti byabwe okuyambako mu bujjanjabi  bw'e Kitundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Abasomesa b'e Makerere bewozezzaako...

Entalo 10 Sheikh Muzaata z'azze alwana

Mbararakkanisa 220x290

Ab'e Mbarara bazimbye Ekkanisa...

Ssaabalabirizi Stanley Ntagali yagenda okugiggulawo nga Pulezidenti Museveni yasubirwa okuba omugenyi omukulu....

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.