TOP

Abachina bali ku gwa kukuba ssentebe Bwanika

By Rogers Kibirige

Added 4th March 2017

ABACHINA batabukidde ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika ne bamukuba agakonde nga bamulanga okubayimiriza okusima omusenyu mu nnyanja Nalubaale.

Chinese1 703x422

Omuchina ng’agezaako okutuga Galiwango (mu byeru) eyabadde ataasa ssentebe Bwanika (ku kkono) ku Bachina abaabadde bamukuba.

Bya ROGERS KIBIRIGE

ABACHINA batabukidde ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika ne bamukuba agakonde nga bamulanga okubayimiriza okusima omusenyu mu nnyanja Nalubaale.

Abachina ba kkampuni ya Only You International Ltd. abalina enkambi yaabwe e Nangombe - Ssazi mu ggombolola y’e Kasanje baakubye Bwanika nga bagamba nti tayinza kubayimiriza kusima musenyu nga bakolera ku biragiro by’abanene mu Gavumenti.

 ba disitulikiti okuli nomukyala nga bakwata muchina Aba disitulikiti okuli n’omukyala nga bakwata Omuchina.

 

Abantu Bwanika be yabadde nabo beerwanyeeko ku Bachina bano ne basobola okutaasa mukama waabwe ng’oluvannyuma baayambiddwaako owa poliisi ne bakwata Omuchina omu ne maneja waabwe, Kennedy Zaake eyabadde ayagala okuggyayo emmundu okubakuba amasasi.

Ku Lwokuna Bwanika n’olukiiko lwe olufuzi okwabadde omumyuka we, Betty Naluyima ne kansala Margaret Gasanyula avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyobulamu, omumyuka wa ssentebe w’eggombolola y’e Kasanje Kigumbo Galiwango nga bali n’avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu disitulikiti, Esau Mpoza baakedde ku mwalo gw’e Nangombe-Ssazi mu Kasanje okulaba ebikolebwa Abachina n’okubayimiriza obutagenda mu maaso na kuwommoggola nnyanja.

 sentebe wanika nga owookubiri ku ddyo nga basiitana nbachina Ssentebe Bwanika nga (owookubiri ku ddyo) nga basiitana n’Abachina.

 

Baasoose kwetegereza ebyabadde bigenda mu maaso ng’ebimeeri bisima omusenyu mu nnyanja ng’ekimotoka ki weetiiye bwe kigutikka ku loole ezaabadde zigusomba kyokka bwe yabuuzizza Abachina bano ebbaluwa za NEMA ezibakkiriza okukola omulimu gwabwe ne layisinsi ezibakkiriza okukolera mu Uganda nga tebabirina.

Yabayimirizza obutaddayo kusima musenyu mu nnyanja ng’agamba nti baabadde boonoona obutonde bw’ensi okuli n’okutta ebyennyanja n’okusaanyaawo amagi gaabyo era n’abasaba okugenda ku poliisi y’e Kasanje kyokka ne bagaana era amangu ago ne batandika okumukolako effujjo n’abantu be yabadde nabo nga bwe babakuba enguumi, ensambaggere ne jjudo.

 sentebe wanika nga yeewoma ekikonde kymuchina Ssentebe Bwanika nga yeewoma ekikonde ky’Omuchina.

 

Bwanika ng’ayambibwako abantu be yabadde nabo n’omuserikale wa poliisi baasinzizza Abachina bano amaanyi ne bakwata mukama waabwe ne maneja waabwe, Zaake ne babatwala ku poliisi y’e Kasanje ne baggulwako omusango gw’okukuba ssentebe wa disitulikiti n’abantu be wamu n’ogwokwonoona obutonde bw’ensi egiri ku fayiro nnamba SD:13/02/03/2017.

Baayongeddwaayo ku poliisi y’e Ntebe gye bakuumibwa mu kiseera kino nga bwe balindirira okutwalibwa mu kkooti.

Bwanika yategeezezza nti omusango guno agenda kugutwala mu kkooti avunaane Abachina bano ng’agamba nti tajja kubakkiriza kusaanyaawo nnyanja nga ye ssentebe wa disitulikiti era n’anenya ekitongole kya NEMA obutakozesa maanyi okukwata Abachina bano abawommoggola ennyanja ne batta n’ebyenyanja nga bwekikolebwa abalwanyisa envuba embi.

 bachina nga bubeefuka nabakozi ba disitulikiti Abachina nga bubeefuka n’abakozi ba disitulikiti.

 

Bino we bijjidde nga minisitule evunaanyizibwa ku mazzi n’obutonde bw’ensi yaakamala okuwandiikira kkampuni eno eya Only You International Ltd ng’egiragira obutaddayo kusima musenyu mu nnyanja era ne bagiragira n’okuggyayo ebimeeri byabwe mu nnyanja n’okuzzaawo omwalo nga bwe gwali kyokka ne bagijeemera ate nga waliwo n’omusango gw’okwonoona obutonde bw’ensi oguli ku SD:17/28/12/2016 ku poliisi y’e Kasanje gwe baabaggulako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...