TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi n’abatuuze mu Makindye bataddewo empaka z’ebyemizannyo

Poliisi n’abatuuze mu Makindye bataddewo empaka z’ebyemizannyo

By Ponsiano Nsimbi

Added 4th March 2017

BASSENTEBE b’ebyalo okuva mu miruka 12 basisinkanye aduumira poliisi y’e Kabalagala, Benard Mugerwa n’abakulira poliisi ez’enjawulo mu kitundu, okutema empenda okunnyikiza enkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

Nkolagana 703x422

Bafana (ku ddyo) n’abapoliisi nga bakwasa owa LC e Kibuli (mu ssaati emmyufu) omujoozi.

Bya PONSIANO NSIMBI NE ISMAIL MULANGWA
 
BASSENTEBE b’ebyalo okuva mu miruka 12 basisinkanye aduumira poliisi y’e Kabalagala, Benard Mugerwa n’abakulira poliisi ez’enjawulo mu kitundu, okutema empenda okunnyikiza enkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
 
Baabadde ku kisaawe kya Nsambya Gogonya mu muluka gwa Nsambya Central B.
 
Olukiiko lwetabiddwaamu n’abatuuze okuva mu miruka omuli Kisugu, Buziga, Kansanga,Ggaba, Kibuli, Namuwongo, Katwe II n’ebirala.
 
Mugerwa yagambye nti baasalawo okukola ebintu ebiyinza okukungaanya abavubuka n’okubagatta nga bayita mu byemizannyo.
 
N’agattako nti abavubuka abali wakati w’emyaka 18 okutuuka ku 35 be basinga okukwatibwa obumenyi bw’amateeka ng’abamu batuuka n’okusibwa olw’emisango emitono egisobolwa okugonjoolwa singa baba bakolaganye bulungi nayo.
 
Yagambye nti yakizudde ng’abavubuka mu myaka gino tebaagala kujjumbira nkiiko za byalo n’emisomo egitegekebwa poliisi ku byokwerinda.
 
Yayongeddeko nti obutabanguko mu maka bweyongedde mu kitundu nga waliwo obwetaavu okwongera amaanyi mu kubunyisa enjiri n’enkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo nga tutandikira mu maka gaffe.
 
Kansala Joseph Lubanga owa Nsambya Central B, yaloopedde Mugerwa ng’abamu ku basajja be bwe bagufudde omuze okuggya ku bantu ssente ekintu ekittattanya erinnya lya poliisi.
 
Ssaalongo Kamya omumyuka wa ssentebe wa Ggaba Trading Centre, yagambye nti poliisi omulimu gwayo egukoze naye naffe ng’abatuuze tulina okukolera awamu okulaba nga tunwyeza ebyokwerinda n’okujjumbira emisomo n’enkiiko eziba zitegekeddwa poliisi n’abakulembeze.
 
Omuyimbi Ziza Bafana ow’e Buziga naye eyeetabye mu lukiiko yategeezezza nti abantu tebasaanye kutya poliisi kubanga eriwo okutulaga ekkubo n’okugolola ensobi n’abasaba okukolera awamu ne poliisi okugimanyisa abamenyi b’amateeka.
 
Mu kaweefube w’okunnyikiza enkolagana ya poliisi n’omuntu waabulijjo aduumira poliisi y’e Kabalagala Mugerwa ng’akolaganira wamu n’abatuuze baataddewo empaka z’ebyemizannyo ezimaze wiiki ssatu nga zibumbujja.
 
Oluvannyuma lw’olukiiko luno omuyimbi Bafana yakwasizza abakulira ttiimu essatu emijoozi mwe bagenda okuzannyira ng’era omuwanguzi wakusitukira mu sseddume w’ente n’ebirabo ebirala.
 
Omugenyi omukulu asuubirwa okubeera omuduumizi wa poliis, Gen. Kale Kayihura.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?