TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana Chameleon gwe yazaala ng’asoma asitudde enkundi,ayagala amutwale eka

Omwana Chameleon gwe yazaala ng’asoma asitudde enkundi,ayagala amutwale eka

By Josephat Sseguya

Added 5th March 2017

Diana Yvonne Namayanja 19, agamba nti ye muwala wa Chameleone omukulu ng’ekiseera kituuse atandike okubeera mu maka ga kitaawe.

Namayanja1 703x422

Diana Yvonne Namayanja

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

Jose Chameleone bwe yali asoma e Kawempe yalina omuwala gwe yatambulanga naye. Omuwala ono yazaala omwana era asitudde enkundi ng’agamba nti Chameleone ye kitaawe.

Diana Yvonne Namayanja 19, agamba nti ye muwala wa Chameleone omukulu ng’ekiseera kituuse atandike okubeera mu maka ga kitaawe.

 

Chameleone abeera Sseguku ku lw’e Ntebe ne mukazi we Daniella Atim.

Ku Lwokuna, Namayanja yeesitudde n’agenda okusisinkana jjajjaawe Mzee Gerald Mayanja ku dduuka e Nakasero.

Mzee Mayanja yategeezezza nti kituufu amanyi maama w’omuwala ye Annet Mbabazi.

“Oyo Mbabazi mukwano gw’abaana bange. Twali tubeera Kawempe nga ne Mbabazi gy’abeera. Yasoma n’abaana bange”, bwe yategeezezza.

 hameleon Chameleon

 

Kyokka n’agattako, Chameleone ne Mbabazi be balina okundeetera omuzzukulu so si muzzukulu kwereeta yekka.

Bwe banaamuleeta nja kumwaniriza.

Omuwala yabadde akyawuliriza ate Mzee Mayanja n’atabuka n’amuboggolera: Nviira. Oba tolina waakusula, nze nnina ennyumba nnene.

Chameleone y’andaga abazzukulu. Tebeereeta bokka. Namayanja agende mu FIDA awawaabire nnyina bamuwalirize amulage kitaawe.

Namayanja agamba: Ebyo byonna mbigumidde. Nja kukwata ebintu byange mbitwale ewa taata tubeere ne maama aliyo Daniella.

 hameleon ngali nabaana be Chameleon ng’ali n’abaana be.

 

Bwe wabaawo awakana, tugende batukebere omusaayi. Mpezezza emyaka 19, bwe sigenda kati mu kika kyange olwo ndigendayo ddi?

Agamba nti tamanyi lwaki nnyina tamutwala mu kika kye kubanga bakitaabe (baganda ba Chameleone) bamumanyi naddala Weasel (Douglas Sseguya).

Agattako nti ssengawe Josephine Mayanja naye amumanyi era olumu yamugamba nti bwe wabaawo abamubuusabuusa ye Josephine ajja kumutwala mu musaayi.

Chameleone eggulo yategeezezza Bukedde nti omwana bw’aba akakasa nti y’amuzaala yeesitule ne nnyina bamutwale ewa Mzee Mayanja y’aba asalawo.

“Omuwala abadde wa emyaka 19 gyonna? N’asalawo okujja kati? Nze siyinza kwegaana mwana bwemba nze muzaala kubanga ndi muzadde. Kyokka sijja kuzaala buli avaayo n’agamba nti Chameleone ye taata”, bwe yagambye.

 amayanja agamba nti hameleon ye kitaawe Namayanja agamba nti Chameleon ye kitaawe.

 

“Banzigyako omusaayi ne guterekebwa mu tterekero ly’omusaayi e Wandegeya ne mbalagira bagutereke okumala emyaka 30 nga neerinda nti ne bwe ndiba nfudde ne wabaawo aleeta omwana balikozesa omusaayi ogwo okwewala enkaayana”, bwe yannyonnyodde.

N’agattako nti omuwala oyo mukkirizza agende e Wandegeya bamuggyeko omusaayi bagugeraageranye n’ogwange. Bwe bivaayo nga nze mmuzaala ajjirewo e Seguku kubanga aba mwana wange. Aleme kulowooza nti ajja kujja buzzi wa Daniella tumwanirize.

Bukedde yabuuzizza omuwala, lwaki nnyina tamutwala gye yamuzaala? Namayanja yategeezezza nti nnyina takyabeera naye.

“Mmaze ebbanga nga mmusaba antwale ewaffe kyokka yagendayo n’aleeta ssente ate n’atazimpa”.

Bukedde bwe yakubidde Mbabazi essimu teyagikutte kutangaaza ku nsonga eno.

Asisinkana maama wa Chameleone

Agamba nti yagenda ne kizibwe we ne basisinkana maama wa Chameleone mu 2011 e Sseguku–Katale nga ne Mzee Mayanja yamusangawo kyokka Mzee Mayanja n’amugamba nti, maamawe (Mbabazi) ye yalina okumulaga ekika kye era ye yandimututte e Sseguku.

Agamba nti Prossy Mayanja maama wa Chameleone yamuddamu nti, eky’okuba omwana wa Chameleone tebakirinaako buzibu kyokka n’agamba nti abaana ba Chameleone bonna bamufaanana nnyo kyokka ye Namayanja tamufaanana.

“Nze nnafaanana maama. Ebya Chameleone okumufaanana birala. Ekikulu ye kitange”, bwe yagambye.

Yagambye nti nnyina yagaanira ddala okumubuulira kitaawe, kyokka bamaama be abato, bakojja ne jjajja azaala nnyina bamubuulira lunye nti nnyina yamuzaala mu Chameleone nga bakyasoma.

 r hiner Dr. Shiner

 

Bukedde yamubuuzizza lwaki avuddeyo kati okunoonya kitaawe? “Bulijjo ssente maama z’anona mu famire ya Chameleone tazimpa kyokka ng’abagamba nti azireetera nze. Famire yange ku ludda lwa maama be babadde bannoonyeza fiizi naye ssente zibaweddeko. Bandabiridde kuva nga ndi muwere. Kyokka bwe nnamala siniya eyookuna, ssente z’okunnyongerayo ne zibula. Kati sisoma ate nga taata wange (Chameleone) alina obusobozi”, bwe yategeezezza.

Abadde asomera ku Crane High e Nateete gye yamalira siniya eyookuna mu 2015 n’adda ku St. Andrews Lugazi mu siniya eyookutaano n’avaayo nga talina fiizi.

Yatandika okukola mu supamaketi ku ssundiro ly’amafuta erya Total e Nateete –Wakaliga.

Agamba nti Jjajjaawe azaala nnyina ensonga z’obuzaale bwe azimanyi era ye yamutuuma erinnya lya Namayanja.

Bwe yakula, jjajjaawe yamugamba nti olw’okuba ye mwana wa Chameleone omukulu kyandibadde kirungi n’amubbulamu jjajjaawe Mayanja. Kyokka olw’okuba muwala kwe kumutuuma Namayanja.

Jjajja era yantegeeza nti banzaala mu 1998, Chameleone bwe yali asoma ne maama mu Kawempe S.S.

Abaana ba Chameleone:

Alina abaana bataano abamanyiddwa okuli aba Daniella bana n’owa Dorotia amanyiddwa nga Ayla Mayanja alina emyaka 16.

Abaana BA Chameleone abalala

Mu October 2015, waliwo omuvubuka ow’emyaka 20 eyavaayo n’alumiriza nti Chameleone ye kitaawe.  Ono amufaanana nnyo. Wabula Chameleone yamwegaana nti, okufaanana si Luganda.

Omubuvuka ono yeeyita Dr. Shiner naye muyimbi yategeeza nti naye nnyina yamutegeeza nga bwe yali asoma ne Chamelene e Kawempe nga gye baasisinkana.

Owa Naila Ali

Ono yali muzinyi mu vidiyo ya Chameloene eya “Nkwagala nnyo munnange” n’azaala omwana muwala n’agamba nti wa Chameleone.

Chameleone yagenda e Wandegeya ne bamuggyako omusaayi nga gulaga nti si wuwe.

Mwannnyina wa Chameleon agamba

Josephine Mayanja, mwannyina wa Chameleone abeera e Hoima yagambye nti, “ Si nze nsalawo abaana ba Chameleone. Agende ewa nnyina y’aba amutwanjulira. Oba agende ewa Mzee Mayanja”.

Kiki ekiddako?

Namayanja yagambye ategeka kwesitula n’ebibye agende ewa Chameleone e Seguku. Ebirala binaggwera eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana