TOP

Nakawere bamusobezzaako ne bamusogga ebiso mu mbugo: Ataawa

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2017

“Basoose kumpisamu mpi n’oluvanyuma ne bansitula ne bantwala mu kikuubo olwo ne batandiika okunkozessa omu kwomu”, Asiimwe bwategeezezza.

Asiimwe1 703x422

Asiimwe mu ddwaliro

Bya Tonny Tumbya

ABAVUBUKA ab’ettima babiri abatannamanyika mannya bakkakkanye ku nnakawere ne bamusobyako oluvanyuma ne bamufumita ebiso ku mutwe ne mu mbugo.

Obulumbaganyi buno bubaddde kumpi ne Hotel Continental mu kibuga kya Iganga mu kiro ekikeesezza leero ku Lwokutaano.

Bino okubaawo kyaddiridde Hadijja Asiimwe, 30 omutuuze w'e Kaliro Road ng'asiika bya kulya mu kibuga okugwa ku kibambulira kino.

Asiimwe gwetusanze mu ddwaliro ng'ali mu mbeera mbi atubuulidde nga bw'akyali nnakawere.

“Baasoose kumpisaamu mpi oluvanyuma ne bansitula ne bantwala mu kikuubo olwo ne batandika okunkozessa kirindi,” Asiimwe bw'ategeezezza.

Ayongeddeko nti oluvannyuma baakutte akaso ke yabadde nako mu bbaafu ne bamusaalasala mu bulago ne mu mbugo ng'eno nwe bamukanda okubawa ssente z’ava okukola, ekintu kye yagondedde n'abawa emitwalo 50,000 gye yabadde nagyo.

Bakira Asiimwe anyumya bino nga yenna bw'attulukuka amaziga nga naawe gw'anyumiza tolema kukaaba! Ttima nnabaki lino!!!

Ayongerako nti  teyazzeemu kuddamu kumanya biri ku nsi era enkuba eyatonnye ekiro yonna yamuggweereddeko kuba abazirakisa okutuusa ku makya abazirakisa lwe bamulabye ne bamutwala mu ddwaaliro ly'e Nakavule okufuna obujjanjabi.

Ono asabye Poliisi ekole okunoonyereza ku nsonga abaamukozeeko effujjo lino bakwatibwe bavunaanibwe.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East, James Mubi agaanye okubaako ky'ayogera ku nsonga eno kuba tewali muntu yenna y'agenzeeko ku Poliisi kuwaaba ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze