TOP

Rema Namakula agudde mu bintu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2017

Rema Namakula agudde mu bintu

Fu1 703x422

Remah Namakula ng'assa omukono ku ndagaano y'obw'Ambasadda bwa Itel ate ku ddyo ye manager we Kayemba nga yeekeneenya ebiwandiiko

OMUYIMBI Rema Namakula ku olwaleero atadde omukono ku ndagaano ya mwaka 1 n'Abachina ba kkampuni y’essimu za itel mwe bamufuulidde Ambasada waabwe.

Rema kati y'Ambasadda wa w'essimu za Itel mu Uganda okumala emyezi 12, okusinzira ku ndagaano gye bassizzaako omukono n’abakulira kkampuni eyo mu woteri ya Triangle olwaleero  mu Kampala.

Alina okuyita mu kuyimba okusaasaanya obubaka bwabwe era maneja we, Godfrey Kayemba eyabaddewo nga kalabaalaba yabadde musanyusu bya nsusso kubanga bagenda kumuyambangako ne mu bintu bingi omuli okukakasanga nti alabika bulungi nga ambasada.

Wabula yagaanye okwasanguza omuwendo gwa ssente ezigenda okumuweebwa buli mwezi. Abakulira kkampuni eyo baategezezza nti singa Rema akola bulungi okumala omwaka mulamba bajja kumwongera endagaano empya.

Kitunzi waayo, Alex Liu agambye basazeewo okukola ne Rema kubanga alina ekitone eky’enjawulo ate ng’alabika bulungi ate mukazi mukozi nnyo alina esswaga n’ebirala by’ataayogedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...