TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire y'abantu 9 esimattuse okufiira mu kabenje akasaanyizzaawo ennyumba

Famire y'abantu 9 esimattuse okufiira mu kabenje akasaanyizzaawo ennyumba

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2017

Famire y'abantu 9 esimattuse okufiira mu kabenje akasaanyizzaawo ennyumba

Gu1 703x422

Lukululana esaanyizzaawo ennyumba ku ludda e Mbarara

Bya Florence Tumupende

Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara ku kyalo Kyoko mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti ey’e Lwengo okuliraana okumpi ddala n'awaakagwa akabenje akafiiramu abantu abana ku ntandikwa y'omwezi guno.

Ddereeva wa lukululana nnamba ZE3499T yeekanze emmotoka bbiri ezibadde ziva e Mbarara bw'abadde ng'emu ebadde egezaako okumuyisa lukululana n'emulemerera okukakkana ng'ewabye n'eyingira ennyumba yonna n'esaana wo.

 

Akabenje kagudewo ku ssaawa 4:00 ez’ekiro ekikeesezza olunnaku
olwaleero,wabula abaduukirize mu kifo ky’okutaasa ebintu munnyumba basazeewo ku bibba nga n’ekyewunyisa ebyayatiseyatise nabyo babitute okubitunda mu byuma ebikadde.

Mu kiseera akabenje we kagwiiriddewo bannyini nnyumba tebaabaddemu nga baabadde bagenze ku suzaako munnaabwe eyafiriddwa ate abaana abato nga balekeddwa ewa mulirwana waabwe nga babatiisa okubaleka munnyumba bokka.

Ababadde basula mu nnyumba eno kuliko Charles Bbanga 71,Mary Bbanga 67,Lawrence Katumba 49,Mike Lubega 40,Teddy Nakyaze 71,Charles Muwonge 17,Recheal Nandawula 12 Dennis Oliyema 10 ne Togi Oliyema 13.

Ebintu ebyagoyezeddwa kuliko ekiyungu ennyumba  ne kalonda abeera awaka omuli emifaliso amasefuliya,ebitanda ebidomola,entebe nga kw'ogatta ebirime ebyagoyezeddwa omuli
emmwaanyi,ebijanjaalo,muwogo,kasooli n’ebitooke.

 

Bano boolekedde enjala ani amuwadde akatebe olw’ebirime byabwe
okusanawo nga kwotadde okweralikirira abatemu abayinza okubatuusaako obulabe olw’okukimanyako nti kati basula wabweru.

Balaajanidde Gavumenti n’abazira kisa abasobola okubadduukirira
baveeyo ku mulanga gwa bwe kye bagambye nti n’abaana boolekedde okubaggyamu mu masomero kuba ebirime mwe babadde baggya akasente bya goyezeddwa nga n’ebikozesebwa omuli ebitabo ne yunifomu ababbi babitute.

Ye dereeva wa tuleera Hassana Swaleh yalabiddwako ng’akuba amasimu ag’okumukumu ssaako okwewala kamera za Bukedde .
Akulira ebidduka ku nguudo mu disitulikiti y’e Lwengo Asp Reinhold
Rwakirenzi akakasiza akabenje kano nga bwe kaavudde ku bagoba ba mmotoka  abaabadde bavugisa ekimama n’okuyisiza awatakirizibwa nga mu kiseera kino poliisi etandise omuyiggo gw’okubanoonya bavunanibwe.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’