TOP

Ssentebe aseeredde ku madaala ga Klezia n’afa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2017

BANNADDIINI, abakulembeze n’abatuuze baabuutikiddwa ensisi, Ssentebe abadde omugundiivu bw’aseeredde n’agwa ku madaala g’omulyango gwa Klezia w’amenyekedde okugulu n’aggyawo olumbe olwamusse amangu.

Ensisi1 703x422

Abamu ku bamulekwa ba Musaka mu kuziika kitaabwe.

Bya Senabulya Baagalayina

BANNADDIINI, abakulembeze n’abatuuze baabuutikiddwa ensisi, Ssentebe abadde omugundiivu bw’aseeredde n’agwa ku madaala g’omulyango gwa Klezia w’amenyekedde okugulu n’aggyawo olumbe olwamusse amangu.

John Mukasa Bakitumye 62, akabenje yakafunidde ku Klezia y’ekigo kya St. Jude e Lukaya mu Kalungu mwe yakulemberako nga Ssaabafumbo okumala emyaka kkumi.

Bwo obwassentebe bwa Agip Cell abumazeeko emyaka 30 n’omusobyo.

Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr. Paulo Mukasa n’eyaliko Meeya wa Lukaya, Bonny Kiddu Ssali baategeezezza nti Mukasa ng’agudde, baamuddusizza mu ddwaaliiro ne bamufunira n’abayunzi.

Agattako nti okumenyeka kwattusizza obulwadde bwa ssukaali obuludde nga bumutawaanya okukkakkana ng’afudde.

Omugenzi yaziikiddwa nnamungi w’omuntu ku biggya ewa kitaawe Ssaalongo Michael Ssebutemba e Buseke- Kaliiro mu ggombolola ya Kalungu Rural.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera