TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abachina 20 bakwatiddwa mu Uganda lwa butaba nabiwandiiko

Abachina 20 bakwatiddwa mu Uganda lwa butaba nabiwandiiko

By Moses Nsubuga

Added 20th March 2017

Abachina 20 bakwatiddwa mu Uganda lwa butaba nabiwandiiko

Ba1 703x422

EKINTONGOLE ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira mu ggwanga kikoze ekikwekweto mu kiro ekikeesezza olwaleero ne kikwata abantu 20 okuva mu ggwanga lya China abasangiddwa mu wooteri ya Arirang e Nakasero ne Kololo Courts nga tebalina biwandiiko biboogerako n'okubawa olukusa okubeera mu ggwanga.

 

Bano okukwatibwa kiddiridde bannayuganda okwemulugunya nti mu bifo ebiriraanye Wooteri ya Arirang mulimu Abachina ababeeramu kyokka nga tebamanyiddwa biki bye bakoleramu.

 

Simon Mundeyi akulira ebikwekweto mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira mu ggwanga akakasizza okukwatibwa kwa Abachina bano n'ategeeza nti bano basangiddwa nga tebalina biwandiiko bibakkiriza kubeera mu ggwanga wadde okukoleramu kyokka kizuuliddwa nti babadde beenyigira mu mirimu omuli okufumba, okulongoosa wamu n'okuweereza mu wooteri.

 

Simon ategeezezza nti ku bantu 20 abakwatiddwa kuliko 5 abasangiddwa n'ebiwandiiko ebituufu ate 15 tebasangiddwa nakiwandiiko nakimu era era nga bano babasigazza okutuusa nga bawfunye omuntu abeeyimirira oba okuleeta ebibakwatako.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

So1 220x290

Maama togwa mu luwombo!

Maama togwa mu luwombo!

Rib2 220x290

Afande munsiba naye ntamidde

Afande munsiba naye ntamidde

Yap2 220x290

Akola n’omwagalwa we ku mulimu...

Akola n’omwagalwa we ku mulimu mukole bino muleme kutabuka

Lob2 220x290

By’olina okukola munno abadde akubuusabuusa...

By’olina okukola munno abadde akubuusabuusa addemu okukwesiga

Ai1 220x290

Omukazi bw’atiribira kyongera omusajja...

Omukazi bw’atiribira kyongera omusajja okusuukiira olwo ne zidda okunywa