TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eggumizza envumbo ku musango gw'obuyigirize bwa Kato Lubwama

Kkooti eggumizza envumbo ku musango gw'obuyigirize bwa Kato Lubwama

By Alice Namutebi

Added 22nd March 2017

KKOOTI ejulirwamu eyongedde okussa envumbo ku musango gy’obuyigirize bw'omubaka wa Lubaga South mu Palamenti, Kato Lubwama n'eragira nti tewaba kkooti yonna etuula okuwulira omusango gwonna okukwata ku buyigirize bwe.

Kato1 703x422

Omubaka Kato Lubwama ku kkono n'omuyambi we ku kkooti. Ekif: ALICE NAMUTEBI

Leero Kato Lubwama n’omuvubuka Habib Buwembo, awakanya obuyigirize bwe bakedde mu kkooti omulamuzi Cheborion Barishaki gy'asinzidde n'ayongera okukuggumizza envumbo gye yayisa omwezi oguwedde ku musango guno.

Kibadde kisuubirwa nti omulamuzi Steven Kavuma agenda kuwa ensala ye oba omusango gwa Kato aguvaamu nga bwe yasabibwa Buwembo, kyokka bw'etudde, omulamuzi Barishako n'ayisa envumbo empya.

Envumbo eno etageeza nti okutuusa nga kkooti ejulirwamu emaze okutuula n'ewulira okwemulugunya kwa Kato mw'awakanyiza omulamuzi wa kkooti Enkulu, Margret Oguli okukkiriza Buwembo okumuggulako omusango ng'ennaku mw'eyalina okukikolera zaggwaako, tewali kkooti ndala yonna ekkirizibwa kuwulira musango gwa Kato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...