TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bannayuganda ababeera ebweru bawewuddwa ku kufuna obutuuze bw'emirundi ebiri

Bannayuganda ababeera ebweru bawewuddwa ku kufuna obutuuze bw'emirundi ebiri

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2017

BANNAYUGANDA abali mu mawanga g’ebweru bagonzeddwaamu mu ngeri y’okufuna obutuuze bw’amawanga abiri obwa Uganda n’ensi gye babeera.

Twala1 703x422

Okuva ku ddyo, Ambaasada Wonekha, abakungu; Wandire ne Muky. Kiremerwa

Bino byatuukiddwaako mu musomo ogwayogereddwamu abakungu ba Gavumenti ya Uganda okuva mu Minisitule y’Ebyettaka n’ey’Ensonga z’omunda, ogwategekeddwa mu kibuga Washington DC  ekya America ku Lwomukaaga nga 25/03/2017.

Omusomo gwakubiriziddwa omukungu wa Gavumenti, Muky. Florence Kiremerwa, omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Bannayuganda ababeera mu mawanga g'ebweru.

Mu bikulu ebyatuukiddwaako mwe muli eky'okuba nti kati Bannayuganda ebweru tekikyabeetaagisa kusooka kudda wano kuyita mu buwonvu na bugga ku nsonga z'obutuuze obw'emirundi ebiri.

 Abamu ku beetabye mu musomo nga beewandiisa okufuna satifikeeti y'obutuuze bw'amawanga abiri

Kati Bannayuganda abaagala okufuna obutuuze obw’emirundi ebiri basasula ddoola 400 eza Uganda 1,442,000/- ne bafuna ekiwandiiko mu lunaku olwo, teri kuddamu kutegana nga bwe gubadde emabega.

Beeyambisizza embeera eno okufunira bakazi baabwe n’abaana satifikeeti z’obutuuze bw’emirundi ebiri, okuzza obuggya paasipooti zaabwe,okusaba viiza, n’ebintu ebitala ebyekuusa ku nsonga ezo.

Mu lukung'aana lwe lumu, baasomeseddwa ku ngeri y’okugulamu ettaka n’amayumba wano mu Uganda n’engeri y’okwemulugunyaamu mu mateeka singa baba ‘’bayisiddwaawo’’ ab’enganda n’emikwano gyabwe abasigala wano.

 bamu ku annayuganda abeewandiisizza nga balaga satifikeeti ze baafunye Abamu ku Bannayuganda abeewandiisizza nga balaga satifikeeti z'obutuuze bw'amawanga abiri (dual citizenship) ze baafunye

 

 

Baasomeseddwa ku ngeri y’okwekenneenyaamu ebyapa byabwe okuzuula nga bituufu era ne basuubizibwa nti ebizibu byabwe ebikwata ku kwemulugunya naddala ku nsonga z’ettaka kujja kukolwangako mu bwangu.

Bannayuganda baasiimye Gavumenti okusindika ekibinja kino era ne basaba enkola eno esigale ey'obwasseruganda esigale ng'egenda maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”