TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga balaze kye baagala Pulezidenti Museveni abakolere

Bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga balaze kye baagala Pulezidenti Museveni abakolere

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2017

Bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga balaze kye baagala Pulezidenti Museveni abakolere

We1 703x422

Omwogezi w'ekibiina kya NRM ebweru w'eggwanga ow'ekiseera Moses Kimuli ng'ayaniriziddwa bannakibiina abalala mu Ggwanga lya Turkey ate ku kkono mu Jacket ye Hussein Wasswa akulira NRM mu ggwanga lya Turkey

BANNAKIBIINA kya NRM ebweru w'eggwanga balaze essanyu ku ngeri Pulezidenti Museveni gy'akulembeddemu eggwanga lino era ne bamusaba nti bw'abeeranga akooye okkulembera eggwanga lyattu Uganda abalage omuntu omutuufu asobola okumuddira mu bigere batandikirewo okumuwagira.

Okwogera bino babadde bali mu kwaniriza omwogezi w'ekibiina kya NRM ow'ekiseera ebweru w'eggwanga Moses Kimuli mu kibuga kya Turkey ekikulu Instambul.

Mu ssanyu ery'ekitalo bamutegeezezza nti bbo nga bannakibiina kya NRM mu mawanga g'ebweru bajja kunyolwa nnyo nga Pulezidenti Museveni avudde mu bukulembeze bw'eggwanga nga tabalaze muntu ki omutuufu alina okutwala eggwanga lino mumaaso.

 "Ffe engeri gye twagala Pulezidenti Museveni ky'asalawo kye tugenda nakyo oba atuleetedde muntu wa Family ye tetulina buzibu kasita abeera nga yaamutulaze era tumanya nti atulekedde essuubi eyamaanyi mu kibiina kya NRM."Bwebatyo bwe bategeezezza

Omwogezi w'ekibiina kya NRM ebweru w'eggwanga ow'ekiseera Moses Kimuli bw'abadde ayanukula bannakibiina ategeezezza nti obuwagizi bwe babalaze mu bukulembeze bwa Mr Asiimwe Patrick obw'ekiseera tebubangawo mu by'afaayo by'abawagizi ba NRM mu mawanga g'ebweru

Moses Kimuli ategeezezza nti kati obumu bwe balina bubayambye okukung'aanya bammemba abawerera ddala akakadde kalamba era nga bakyagenda mumaaso n'emiramwa gy'okugaziya ekibiina mu mawanga g'ebweru.

Bwennatuuse ku kisaawe ky'ennyonnyi nnayaniriziddwa bammemba abasukka 40 era ne mbategeeza nti emu ku nsonga enkulu endeese mu ggwanga lya Turkey kwe kulaba nti nnoonya akatale akayinza okuyamba bannanyuganda okutunda eby'amaguzi byabwe mu kaweefube wa Gavumenti ya NRM ey'okulwanyisa obwavu.." Bwatyo Omwogezi w'ekibiina ow'ekiseera Moses Kimuli bw'ategeezezza.

 

 

.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...