TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eragidde bakwate omwana alumiriza Bp. Makumbi okusobyako

Kkooti eragidde bakwate omwana alumiriza Bp. Makumbi okusobyako

By Patrick Tumwesigye

Added 5th April 2017

OMULAMUZI wa kkooti y'e Kajjansi alagidde bakwate omwana alumiriza Bisopu Makumbi okumusobyako era ne nnyina akwatibwe ng’abalanga obutaba mu kkooti ng’asoma fayiro yaabwe.

Mak17034221 703x422

Bishop Makumbi ku kkono ate ku ddyo ye mwana agamba okukakibwa omukwano

Kinajjukirwa nti poliisi y'e Kajjansi ng’ekulembeddwaamu akulira abanoonyereza ku misango, Richard Mwijukye oluvannyuma baggula omusango ku Peace Nanangwe ne muwala we nga bagamba nti baabawa amawulire ag'obulimba ne bawaayiriza musajja wa Katonda era ne batwalibwa mu kkomera.

Omulamuzi Hope Bagyenda okuwa ekiragiro kino, kyaddiridde kkooti okusoma omusango gwabwe entuula bbiri nga tebabeeramu mu kkooti.

Omulundi ogwasooka, abawawaabirwa baatuuka kikeerezi ne basanga ng’omulamuzi amaze okusoma fayiro yaabwe.

Ne ku mulundi guno, Nanangwe yagenze okutuuka nga fayiro ye emaze okusomebwa! Wabula omwana teyaleeteddwa mu kkooti, ekyalese abantu nga beebuuza ekimulemesezza.

Nanangwe yategeezezza nti omwana yamukwasa poliisi erwanirira eddembe ly’abantu kubanga waliwo abaagezaako okumuwamba nga baagala okubuza bujulizi wabula naye teyategedde nsonga yabagaanyi kumuleeta mu kkooti.

Newankubadde Nanangwe yasanze omulamuzi amaze okuyisa ekiragiro ekimukwata n'omwana we, kkooti olwawedde yagenze nga tewali amukutte.

Omulamuzi we yasomedde fayiro eno, ne balooya ba Bisopu Makumbi baabadde tebannatuuka mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...