TOP

Crime Preventer asimattuse okuttibwa e Kalungu

By Ssennabulya Baagalayina

Added 5th April 2017

Crime Preventer asimattuse okuttibwa e Kalungu

Fu1 703x422

Poliisi ng'egezaako okutaasa omuyambi waayo ku bantu abaabadde bataamye obugo

POLIISI mu kabuga k'e Lukaya mu Kalungu yasanze akaseera akazibu okutaasa omusajja ku batuuze abaabadde baagala okumutta nga bamulumiriza okubba emifaliso ebiri emipya.

Muhammad Bwemale y'omu ku baatendekebwa okuyambako poliisi mu kutangira obumenyi bw'amateeka abakazibwako erya Crime Preventer nga mutuuze  w'e Kawanda mu Juma Ward.

Bwemale yassizza ekikoowe ng'atuusiddwa ku polisi n'alaba
ng'obulamu bwe buvudde magombe oluvannyuma lw'ebbiina ly'abatuuze eryamukubye emiggo n'amayinza okujula okumutta. 

Abatuuze abataamye okukira enjuki bakira  tebawulira kubwatuka kw'amasasi ng'eno bwe bayiikira abapoliisi
okubaggyako Bwemale bamwekolereko.

Bakira poliisi emuddusa ng'eyambibwako nnanyini kubbibwa Sayid
Ssekyaya ng'eno bwe bagiwerekereza amayinja n'abandi okugirumba ne bamuwuttula.

    uhammad wemale eyasimattuse okuttibwa Muhammad Bwemale eyasimattuse okuttibwa

 

Gye byaggweredde ng'aba poliisi abasooseewo begattiddwako bannaabwe ababakubyemu ttiyagaasi eyagumbuludde abantu ne basobola okutuusa Bwemale mu kaddukulu.

Oluvannyuma yaggyiddwamu n'atwalibwa mu ddwaliiro e Masaka
ng'akuumibwa abasirikale nga bw'annawonamu alyoke agasimbagane n'emisongo gy'okumenya enju n'okubba egiri ku fayiro nnamba Sd Ref 09/O4/04/2017.

Ssekyaya yalumiriza Bwemale nti ye yabakulembeddemu n'abatwala mu kazigo mwe y'abadde yakwese emifaliso gino kyokka emitwalo gye 18 zo tezaalabise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga