TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kibuule agguddewo etterekero ly’ebitabo lya bukadde.

Kibuule agguddewo etterekero ly’ebitabo lya bukadde.

By Henry Nsubuga

Added 11th April 2017

Kibuule agguddewo etterekero ly’ebitabo lya bukadde.

Kib1 703x422

Minisita Kibuule nga bamulambuza ekizimbe kya Stella Maris ekipya

MINISITA omubeezi ow’amazzi, Ronald Kibuule agguddewo etterekero ly’ebitabo ery’abayizi mu ssomero lya Stella Maris Boarding Girls P/S e Nsuubwe mu ggombolola y’e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Sr. Florence Nalumu omukulu w’essomero lino ategeezezza nti ekizimbe kino ekyatandikibwa mu mwaka gwa 2014 kizimbiddwa ku buyambi obuvudde ew’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eyawaayo obukadde 20, obukadde 7.6 okuva ew’omubaka wa Ireland mu Uganda, ensimbi okuva mu bayizi abaasomerako mu ssomero lino n’abazadde ng’awamu kimazeewo obukadde 130.

 

Ng’aggulawo ekizimbe kino ekyatuumiddwa Kevin Library ku Lwomukaaga, Kibuule yasiimye ababiikira olw’omulimu gw’okugunjula omwana omuwala gwe bakoledde emyaka kati egisoba mu 50 n’asiima n’omubiikira Mother Kevin eyalitandika n’amasomero amalala mangi mu ggwanga.

Kibuule yasinzidde wano n’asaba abazadde obutaggwaamu maanyi ku mulimu gw’okuweerera abaana baabwe n’agamba nti kino kye ky’obugagga kyokka omuzadde ky’ayinza okuwa omwana we.

“Gavumenti yakirabirawo n’eteeka essira mu kusomesa omwana omuwala n’okutumbula omutindo gw’omukyala ng’eyita mu kulwanyisa ebikolwa byonna ebityoboola ekitiibwa ky’omukyala,” Kibuule bwe yategeezezza.

 

Kibuule yawaddeyo obukadde bw’ensimbi 5 okuyambako esssomero okugula ebitabo abayizi basome

Sr. Nalumu yagambye nti oluvannyuma lw’okumaliriza etterekero ly’ebitabo, bagenda kuzzaako ekizimbe kya kkalina abayizi mwe banaasomera n’agamba nti obuzibu bwe balina kwe kuba nti bingi ku bizimbe ebiri ku ssomero lino bikadde nnyo ebiruddewo nga byetaaga kuddaabirizibwa oba okuzimba ebipya.

Yategeezezza nti ekizimbe kino kibalirirwamu okumalawo obukadde bw’ensimbi 900 nga ssaawa yonna bajja kuba batongoza omulimu gw’okusonda ensimbi zino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.