TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Hajati abadde asuubula enjaga e Lwengo akwatiddwa

Hajati abadde asuubula enjaga e Lwengo akwatiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th April 2017

Hajati abadde asuubula enjaga e Lwengo akwatiddwa

Sa1 703x422

Hajati Zam Nannyonga akwatiddwa ku bigambi okusuubuza enjaga

POLIISI y’e Lwengo ekutte omuvubuka agambibwa ekweyambisa omukutu gwa Watsup ng'aweereza abantu obubaka obukwata ku kubaguza enjaga olumala okujinywa olwo ne batandika okutigomya abantu mu bitundu bya Greater Masaka.

Akwatiddwa ye Richard Ssemaganda  26 omutuuze w’e Lwebikyunkyu mu Ggombolola y’e Lwengo ng’ono akwasizza ne Hajjati Zamu Nanyonjo 38 omutuuze ku kyalo Ddegeya mu Ggombolola y’e Kisekka agambibwa okujibasuubuza.

 

Obumu ku bubaka obusangiddwa mu ssimu ya Ssemaganda bubadde busoma nti ‘Bbakyali bange muzuukuke mangu temwebaka ye ssaawa ey’okukola kuba Uganda yaleero mwongedde okujizuukusa naddala omwaka guno,era temwekwasa ebyakabi nabireese’.

Mu bubaka buno kigambibwa nti aludde ng’abusindikira abavubuka
ab’enjawulo nga kwe kuli n’abavubuka babiri abaakwatibwa ku by’ekuusa ku ttemu eritadde abantu b'omubitundu bino ku bunkenke.

Ssemaganda olukunyiziddwa ku bubaka buno asoose ku bwe gaana
n’oluvannyuma n'akkiriza nti kituufu ye yabusindise n'abutaputa ekifuula nnenge nti  yabadde ategeeza abavubuka nga bwe batekeddwa okukola bave mu kwebaka obwebassi.

Ate ebyakabi bye yabaletedde ategeezezza nti yabadde ategeeza
njaga kuba Hajjati Zaamu amusuubuza ku bbeeyi ensaamusamu era nga ku mulundi guno abadde yamuguzizzaayo enjaga ey'enjawulo.

Hajjat Nanyonjo asoose kukalambira oluvannyuma lwa poliisi
okumulagira aggulewo olujji abalage enjaga gy'aguza abantu n'abatabukira okwonoona ekitiibwa kye era ye tamanyi na bwe faanana yadde empunya yaayo.

 


   

Wabula poliisi olumuyisizzaamu empi yatandise okulaajana nga yeevuma nga Allah bwamuvuddemu kuba aludde ng’amusaba obutamwabulira mu kalimu akamubezezzaawo ne famireye.

Nannyonjo agambye nti enjaga aludde ng’agisuubula mu disitulikiti ye Wakiso era ng’abajimusuubuza bagitikka ku bbaasi nga kino yakikola okwewala okugula ku bantu b'okumpi abayinza okumuvaamu ne bamuloopa.

Nannyonjo asabye okumusonyiwa n'alayira nga bwataliddamu kusuubula n’okutunda enjaga kuba abadde akimanyi bulungi nti abajinywa ebawa amaanyi og’okutemaatema abantu,okubba n’okuwamba abakazi.

ASP Donald Muhwezi alabudde abantu abalina enjaga okujookya
ng’abukyali kuba ekikwekweto kikyagendera ddala mu maaso ate n'awera nga bwe bagenda okukwata buli muntu amanyi ku ttemu eribadde libuzizaako abantu emirembe mu bitundu bya Greater Masaka.
Abakwata baguddwaako omusango gw’okutunda ebiragalalagala ku Fayiro SDR 33/11/04/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.

Leka 220x290

Omuyizi eyafiiridde mu kidiba kya...

ENGERI omuyizi wa Perfect Primary School e Kulambiro gye yafiiridde mu kidiba omuwugirwa ekya Kiwaatule Recreation...

Fbimg15631781511232 220x290

Buubuno obukwakkulizo Bobi Wine...

OBUKWAKKULIZO Bobi Winebw’atadde ku Chameleone bwaddiridde enkiiko ez’enjawulo aba People Power ze baatuuzizza...

Kola 220x290

Obwavu bwamugabisa omwana wange...

KITUUFU obwavu tebukumanyisa akwagala. Omuwala yagabira omusajja alina ssente omwana wange. Nze Ronald Kakooza...