TOP

Seminti w’Omuzikiti omubbe amukwasizza

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2017

Kigambibwa nti Lubega, yasoose kulimbalimba omukuumi wa sitoowa y’Omuzikiti n’amugamba nti bagendeko mu firimu ku Paasika akawungeezi oluvunnyuma n’amulekayo n’adda ku sitoowa ne batikka seminti ne bamutwala e Kazo mu Angola mu Munisipaali y’e Kawempe.

Najjuma1 703x422

Najjuma nga bamutwala n’emu ku nsawo 46 ezaakwatiddwa ewuwe.

Bya REGINAH NALUNGA  NE WASSWA B SSENTONGO

POLIISI e Matugga ekutte omukazi agambibwa okubba ensawo za seminti 46 okuva ku Muzikiti gwa Masgid Juma e Migadde.

Nuru Najjuma 42 omutuuze w’e Kazo Angola yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okusangibwa ne seminti eyabbiddwa ku Muzikiti.

Yakwatiddwa n’abalala Muhammed Sserunjogi ne Steven Kalinda ddereeva ku siteegi e Kigoogwa.

Olukwe lw’okubba seminti lwalukiddwa Ismail Lubega omu ku bakozi ababadde bazimba ku Muzikiti guno.

Kigambibwa nti Lubega, yasoose kulimbalimba omukuumi wa sitoowa y’Omuzikiti n’amugamba nti bagendeko mu firimu ku Paasika akawungeezi oluvunnyuma n’amulekayo n’adda ku sitoowa ne batikka seminti ne bamutwala e Kazo mu Angola mu Munisipaali y’e Kawempe.

 

Muhammed Nnondo ssentebe w’Omuzikiti guno yategeezezza nti Lubega abadde mukozi waabwe ng’asomba mazzi mu kuzimba wabula era nga yeeyita Meddie Lubega.

Yagambye nti waliwo abantu abaalabye Lubega n’abantu abalala nga battika seminti ku mmotoka ekika kya loole ne batasooka kukissaako mwoyo kubanga omuvubuka ono babadde bamumanyi ng’omukozi w’oku Mumuzikiti.

Oluvannyuma omukumi yakomyewo okuva mu firimu nga sitoowa nzigule n’akizuula nti waliwo ebintu ebibbiddwa kwe kukubira ssentebe w’Omuzikiti n’amubuulira ekiriwo.

Oluvannyuma baagenze ku poliisi e Matugga ne baggulawo omusango guli ku fayiro nnamba SD;15/17/04/2017.

Omuvubuka ono abadde agenda kumpebuula mu bantu benkulembera bampite omuyaaye kubanga sseminti ono ssente zaabwe ze basonda buli omu mu busobozi bwe" Nnondo bwe yategeezezza.
 
Poliisi ng'eyambibwako ba mbega yakutte ddereeva eyavuze sseminti okutuuka kgye bamukwese ewa Najjuma mu Kazo Angola.
 
Ebizibiti byasangiddwayo Najjuma nagamba nti sseminti abadde wa ddiiru nga tebamuseera era buli nsdawo yagiguze 20,000/
 
Ye ddereeva Kalinda yagambye nti bamupangisizza nga tamanyi nti ebintu bibbe era yakoledde emitwalo 7.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba...

Abawala Abakristaayo babalaze ebinaabayamba okuwangula

Deb2 220x290

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku...

Ow’Abasodokisi annyonnyodde ku ky’ebifaananyi Ekisiibo lwe kitandika

Fut2 220x290

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya...

Gavt. w’etuuse mu kuleeta obwenkanya mu minisitule n’ebitongole byayo

Tip2 220x290

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka...

ssebuggwawo alonze olukiiko lw’ettaka ne kkooti ya LC III

Hop2 220x290

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo...

Ettaka ly’e Kiruddu litabudde Mmengo n’Omulangira