Olukung'aana lwakutuula mu Bungereza mu July w’omwaka guno nga lutegekebwa Bannayuganda abali e Bulaaya nga bakulemberwa Abbey Kigozi Walusimbi.
Walusimbi yagambye nti basuubira Pulezidenti Museveni okukulemberamu Bannayuganda okuva mu bitongole okuli: eby’obulimi (Uganda Farmers Association), URA, eby’obulambuzi, akakiiko k’ebyokulonda, ekitebe kya NRM mu Uganda ne kaliisoliiso wa Gavumenti.
Yagambye nti bino bikoleddwa okwongera okusikiriza Bamusigansimbi okujja mu Uganda. Olukiiko olutegeka omukolo lukulirwa Drake Wakame ssentebe wa NRM UK chapter, Charity Baira ye muwanika, Hajji Med Kasujja y’akulira okukunga abantu b’e Sweden ne Male Kamya ssentebe wa NRM e Boston mu Amerika.
Walusimbi yagambye nti olukuhhana lugenda kubeera London mu Bungereza ate Wakame n’ategeeza nti beetegefu okuyambako okuteeka manifesito ya NRM mu nkola.