TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe baasanze ng'akaalakaala n'emmundu bamukubye essasi

Gwe baasanze ng'akaalakaala n'emmundu bamukubye essasi

By Henry Nsubuga

Added 21st April 2017

POLIISI e Mukono ekubye omusajja essasi eyasangiddwa ng’akaalakaala n’emmundu ku kyalo Kigombya mu Mukono Central Divizoni mu Munisipaali y’e Mukono.

Kaala 703x422

Bashir Ssentongo, eyasangiddwa ng'akaalakaala n'emmundu ne bamukuba essasi

RDC w’e Mukono, Maj. David Matovu yategeezezza nti Bashir Ssentongo, 26 ow’e Kyambogo mu Nakawa divizoni yasangiddwa abatuuze ku Lwokusatu ku makya ne bamuteebereza okuba n’emmundu ne batemya ku poliisi.

Matovu yagambye nti Ssentongo omukuumi mu kkampuni y’obwannannyini eya Tiger Security emmundu yabadde agizinze mu kaveera ekyaleetedde abatuuze okumwekengera.

Umar Ssebuyongo akulira ba Crime preventer mu disitulikiti y’e Mukono yagambye nti ono yayagadde okudduka ne bamukuba essasi mu kifuba n’akwatibwa.

Yasangiddwa n’emmundu ekika kya SMG nnamba UGPSO 340270906719 ne kkaadi y’amagye mu mannya ga Private Saturday T. Moses nnamba, RA/192700.

Yagguddwaako omusango ku fayiro SD: 19/19/04/2017 ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Mukono Health Centre IV. Bw’anaaba awonye waakuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome