TOP
  • Home
  • Agawano
  • Okulonda LC kati kwa June ne August omwaka guno

Okulonda LC kati kwa June ne August omwaka guno

By Ahmed Mukiibi

Added 21st April 2017

MINISITA w’Eby’amateeka n’Ensonga za Ssemateeka Maj. Gen. Kahinda Otafiire alangiridde nti okulonda kwa LC1 ne LCII kugenda kubaawo wakati wa June ne August omwaka guno.

Ten1 703x422

ABANTU NGA BASIMBYE ENNYIRIRI OKULONDA

Gavumenti yali yeeyama okutegeka okulonda kwa LCI ne LCII mu January 2017 kyokka ne kwongezebwayo okutuuka mu March 2017 wabula era tekwategekebwa Kati Otafiire akakasizza Palamenti nti ku luno Gavumenti emaliridde okutegeka okulonda kwa LCI wakati wa June ne August 2017.

Okulonda kujja kubeera ku byalo (LCI) 57,842 byonna ebiri mu Uganda n’emiruka 7,431 (LCII) nga kujja kubeera kwa kusimba mu migongo .

Enkiiko za LCI ne LC2 zaaggwaako mu 2006 nga kati giweze emyaka 11 ng’enkiiko ezo ziriwo mu bukyamu nga Gavumenti ezze eyongezzaayo okulonda okwo olw’ebbula ly’ensimbi.

Mu February omwaka guno Gavumenti yawa akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 15 n’obukadde 900 ze keetaaga okutegeka okulonda ng’obuwumbi 10 n’obukadde 700 za kutegeka okulonda kwa LCI ne LCII.

Obuwumbi busatu n’obukadde 300 zaakutegeka okulonda kw’obukiiko bw’abakyala ku LCI ne LCI ate akawumbi kamu n’obukadde 900 za kutimba n’okugogola enkala z’abalonzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gala 220x290

Aba ManCity tebajulira Bravo

CLAUDI Bravo ayolekedde okuvundira ku katebe mu Man City oluvannyuma lw’Omubrazil Ederson, eyaakagulwa mu Benfica...

Gobwa1 220x290

Owa Leicester City akwatiddwa ku...

Leicester, eyawangula Premier mu sizoni ya 2015-16 efuumudde omutendesi Craig Shakespeare olw’okulemwa okulinnyisa...

Waga 220x290

Liverpool etimpudde Maribor ggoolo...

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atenderezza abazannyi be obuteesaasira nga bawuttula Maribor eya Slovenia...

Banga 220x290

'Real Madrid egule Harry Kane'...

EYALIKO Pulezidenti wa Real Madrid, Ramon Calderon awadde abakungu ba ttiimu eno amagezi, okugula Harry Kane okumuggya...

Pala 220x290

Engeri gy’osaggula omukwano mu...

ABASAJJA bangi mulemwa okusaggula obuwoomi bw‛akaboozi ate ne mwekwasa ng‛abakazi bwe batabacamudde, so ng‛ensobi...