TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

By Kizito Musoke

Added 29th April 2017

Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

Ku2 703x422

Muwanga Kivumbi ku kkono ne Kato Lubwama ku ddyo

EBIPYA ku lutalo lw’okuwanyisiganya ebigambo wakati w’ababaka Kato Lubwama (Lubaga South) ne Muwanga Kivumbi (Butambala) biraze ng’entalo zaabwe zirimu ebya ssente okuva mu banene. Obutakkaanya bw’abakulu bombi bweyolese mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda ku Lwokusatu, omuduumizi wa poliisi mu ggwanga ,Gen. Kale Kayihura gye yabadde ng’annyonnyola embeera y’ebyokwerinda mu ggwanga.

Abamanyi eby’omunda baategeezezza nti akakuku kaabwe kaludde. Kigambibwa nti lumu Muwanga Kivumbi baali bamukyazizza ku ttivvi emu ne bamubuuza ku nteesa ya Lubwama mu Palamenti. Mu kwanukula yagamba nti bwe baba boogera ensonga ez’amakulu tezeetaaga kuyingizaamu bintu bwe bityo. Kino kyanyiiza Lubwama n’alabula Kivumbi nti ne bwe luliba ddi alimukwasa n’amulaga nti musajja okutuusa bwe yasazeewo okumwambalira mu kakiiko ka Palamenti.

Obuzibu we bwavudde ye ssentebe wa kakiiko, Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) okugaana Muwanga Kivumbi okusomera akakiiko amannya g’abasibe abaasimbiddwa mu kkooti ku by’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Yabadde agamba nti abasibe bano baali baakwatibwa dda mu kiseera we battira Kaweesi, nga n’emisango egyabasibisa gyanjawulo. Nabakooba yawanyisiganyizza ne Kivumbi (minisita w’e by’okwerinda mu Gavumenti y’oludda oluvuganya) ebisongovu nga Muwanga agamba nti ensonga gye yabadde ayogerako yabadde nkulu nga tebayinza kumala gagivaako nga tebaginogaanyizza.

Nabakooba yalemeddeko nti baabadde tebayinza kwongera kugyogerako ng’omusango guli mu kkooti.

Kato Lubwama yavudde mu mbeera n’atabukira Muwanga Kivumbi olw’obutassa mu banne kitiibwa. Yagambye nti mu mbeera nga Nabakooba amaze okusalawo ku nsonga, Kivumbi okugenda mu maaso n’okugyogerako yabadde tabazeemu babaka balala magezi.

Kino kye kyasirisizza Kivumbi, era Nabakooba n’ava ku nsonga ya Kaweesi n’alagira bagende ku nsonga y’okuyisa embalirira y’ekitongole kya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Oluvannyuma lw’olukiiko Kivumbi yategeezezza nti ab’e Lubaga South baalonda muwulunge amala galeeta katemba nga bateesa ku nsonga z’amakulu. Kyokka ne Kato Lubwama yamwambalidde n’ategeeza nti Kivumbi asussizza okwefuula ow’ekitalo n’okwerowoozaako yekka.

Yategeezezza nti Kivumbi aludde ng’amumanyiira n’okuyisa mu ssentebe Nabakooba amaaso ng’ayagala ababaka abalala bonna batambulire ku ky’ayagala. “Oyo Muwanga Kivumbi mwana ku nze, olw’okuba amanyi okuvuma agenda amanyiira buli muntu. Kyokka yanguddeko kuba namumazeemu amaalo, era sijja kulwana naye okuggyako okumukuba obukubi.” Kato Lubwama bwe yategeezezza.

BIRIMU EBY A SSENTE? Kyokka Muwanga Kivumbi yategeezza bannamawulire nga bwe waaliwo ababaka ba Palamenti abaasisinkana Kayihura ku Serena Hotel bwe baamala okukisalawo nti alina okujja mu kakiiko abeereko byannyonnyola.

Kyokka Kato yategeezezza nti akakiiko okusisinkana Kayihura si kivve, kuba bangi abazze bamusisinkana enfunda eziwera.

Yagambye nti ekizibu kya Kivumbi ayagala nnyo okuwoggana buli Kayihura lw’ajja mu kakiiko ng’ayagala amutiisetiise atere amuyite.

Muwanga Kivumbi yagaanyi okuddamu okwogera ku bya Kato Lubwama n’ategeeza nti alina ensonga enkulu ez’okukolako. Allan Sewanyana (Makindye West) obutakkaanya bw’ababaka yabuyise bwa bulijjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...