TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obubenje buzzeemu ku luguudo lw'e Masaka; Musanvu bafiiriddewo

Obubenje buzzeemu ku luguudo lw'e Masaka; Musanvu bafiiriddewo

By Muwanga Kakooza

Added 6th May 2017

Obubenje buzzeemu ku luguudo lw'e Masaka; Musanvu bafiiriddewo

Na1 703x422

Emmotoka ebaddemu abantu abatokomokedde mu kabenje ku luguudo lw'e Masaka

ABANTU musanvu bafiriddewo  n’abalala babiri ne batwalibwa mu ddwaliro e Masaka nga biwalattaka mu kabenje akagudde  e Mpuwe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kampala.

Akabenje kaguddewo ku ssaawa 6:00 (mukaaga)ogw’ekiro.Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Masaka Lameka Kigozi ategeezezza mu kiwandiiko nti kabenje kaazingidde mu mmottoka enjeru Ipsum nnamba UAS 984 eyabadde eva  ku ludda lw’e Kampala okudda e Masaka ne tuleera eriko nnamba  nnamba  RAC 374 T  ne RL 0678 ey’e Rwanda  okukkakkana ng’abantu musanvu bafiiriddewo.

Abafudde kuliko  abaana babiri n’abasajja abakulu bataano. Ababiri ku
baafudde bategeerekese nga be ba Julis Akabwayi,35, ne Julis Odeke
Emirambo gitwaliddwa mu ddwaliro e Masaka.

Kigozi yagambye nti abaabadde mu tuleera badduse  era n’ategeeza nti akabenje kaavudde ku nvuga mbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...