TOP

Bakutte omukazi akozesa abawala obwamalaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2017

POLIISI ya Kampala Mukadde ekutte omukazi omugagga w’ebbaala nga kigambibwa nti abadde afuna abawala abato okukola mu bbaala ye oluvannyuma n’abasindikira abasajja ne babasobyako mu loogi ze.

Eyakwatiddwa ye Madrine Kwagala nga ye nnannyini bbaala eyitibwa Best Pub esangibwa e Wakaliga nga kigambibwa nti yakwatiddwa n’omusajja omu kw’abo ababadde basobya ku bawala abamukolera.

Okukwatibwa kw’abantu bano kyaddiridde omu ku bawala okwemulugunya ku mbeera y’okukakibwa omukwano mu kifo kino kyokka mu kiseera ekyo waaliwo omuzirakisa, Ashiraf Kyagulanyi ow’e Wakaliga eyali agenze okulaba ku mukwano gwe Ibrahim Jombwe nga DJ mu kifo kino, nga ye yalonkomye abantu bano.

Abawala babiri baalumirizza nnyini bbaala okubatunda mu basajja ne babakuluusanya olwo ssente ne bazisasula nnannyini bbaala.

Abaana bano mu kiseera kino bali mu mikono gya Kyagulanyi eyatemya ku poliisi ku bumenyi bw’amateeka obwali bugenda mu maaso mu kifo kino.

Akulira poliisi ya Kampalamukadde, Grace Nyangoma yakakasizza nga bwe yayambako okukwata abantu bano era omusango ogubavunaanibwa gwa kuyingiza abakozi n’okukuuma abawala n’ekigendererwa ky’okubakozesa mu nsonga z’obuseegu oguli ku fayiro nnamba SD:73/26/04/2017.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima yategeezezza nga poliisi bw’etandise okunoonyereza ku nsonga eno okusobola okuzuula ekituufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka