TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okubba obummonde alaajanye; Mbadde mbutwalira nnakawere wange

Agambibwa okubba obummonde alaajanye; Mbadde mbutwalira nnakawere wange

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2017

Agambibwa okubba obummonde alaajanye; Mbadde mbutwalira nnakawere wange

Po1 703x422

Abdu nga Police emubuuza akana n'akataano ku bigambibwa okubba obummonde

POLIISI ye Kitovu etaasizza  omusajja ku batuuze ababadde baagala okumugajambula ku bigambibwa okubba eddebe ly'obummonde.

Abdu Ssekyomwa omutuuze w'e Ngango ekisangibwa mu muluka gw'e Kalagala mu Ggombolala ye Malongo mu Disitulikti y'e Lwengo y'awonye okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw'okukwatibwa n'eddembe ly'obummonde

 

Ssekyomwa abadde mukozi mu nnimiro ya Peace ey'obummonde era ng'akolamu ne munne wabula yatandise okuluka olukwe olw'okwagala okubba obummonde bwa mukamaawe era n'ategezaako munne atakkiriziganyizza nakyo.

 

Ssekyomwa yagenza mumaaso ne ddiiru ye n'abaza munne nga taliiwo n'atandika okusima obummonde bwa mukamaawe wabula munne yabadde alina waali n'amulengera bwatyo n'agenda atemya ku Poliisi eyamulondodde okutuusa lwa baamusanze ewuwe ng'abuwaata  n'akwatibwa.

 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Anyiize n’ayiira bba olweje

ABAFUMBO bafunye obutakkaanya omukazi n’ayiira bba olweje. Bino byabadde Nansana Nsumbi zooni, Shamim Nakafu bwe...

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.