TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusomali ali ku gw’obutujju ayiyeeyo banne n’akkiriza omusangoAbasomali

Omusomali ali ku gw’obutujju ayiyeeyo banne n’akkiriza omusangoAbasomali

By Musasi wa Bukedde

Added 14th May 2017

Omusomali ali ku gw’obutujju ayiyeeyo banne n’akkiriza omusangoAbasomali

Su1 703x422

Abasomali Sandir Muhammod (ku ddyo), Mohamed Ab-duikahir, Abdi Abdullahi, Hassan Abduwali, Mohamed Ahmed Gele n’abalala abaakwatibwa mu Kiseni ku bya bbomu nga bali mu kaguli ku kkooti enkulu.

OMU ku Basomali abagambibwa okuba nga baali bateze bbomu mu Kisenyi avudde mu banne bw’asazeewo okukkiriza omusango gw’obutujju.Sandir Muhammed Muham-mod yakwatibwa ne banne mu September 2014 mu wooteeri emu mu Kisenyi n’ebintu ebikoz-esebwa okukola bbomu era nga kigambibwa nti baali mu lukwe lwa kutega bbomu ndala mu bitundu eby’enjawulo.

Muhammod amaze emyaka 3 nga yeegaana omusango gw’obutujju ne banne kyokka bwe yaleeteddwa ku kkooti enkulu ew’omulamuzi Elizabeth Nahamya omuwaabi wa Gavumenti, Lil-lian Omara n’ategeeza kkooti nti oludda oluwaabi lulina entegeer-agana gye lwabadde lutuuseeko ne Muhammod mu nkola ya “plea bargain” akkirize omusango bamuwe ekibonerezo ekisa-musaamu.

Omulamuzi yazzeemu n’abuuza Muhammod oba ng’akkiriziganya n’ebigambo by’omuwaabi wa gavumenti. Yakki-riza era omulamuzi n’agamba nti eki-teeso kya Muhammod agenda kukiweereza abalamuzi 3 abagenda okuwulira omusango guno be baba ba-salawo.Okusinziira ku bujulzi bw’oludda oluwaabi, Muhammod yali asingi-siddwaako omusango gw’obutujju mu Somalia era naweebwa ekibon-erezo kyakuwanikibwa ku kalabba naye pulezidenti n’amusonyiwa.

Kigambibwa nti Muhammod yasalawo okujja mu Uganda atandike obulamu obupya naye abatujju ba Al shabab ne basigala nga bamugoberera kubanga baali bamukozesa era kwe kumuteeka mu lukwe lw’okukolagana ne Basomali banne batege bbomu endala mu Uganda.

Wabula banne bavunaanibwa nabo okuli Mohammed Abdui-kahir, Abdi Abdullahi, Hassan Abduwali, Mohamed Ahmed Gele n’abalala emisango gy’obutujju bakyagyegaana era bonna bazid-dwaayo mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 22, 2017

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...