TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abamerika bakutte Munnayuganda abadde akola bbomu n'okusiba enjaga

Abamerika bakutte Munnayuganda abadde akola bbomu n'okusiba enjaga

By Patrick Tumwesigye

Added 15th May 2017

Kigambibwa nti Abamerika baludde nga balinnya Balinda akagere nga bakozesa ‘setirayiti’ okutuusa lwe baamukutte ku misango omuli okukukusa enjaga n’ebyokulwanyisa mu Amerika.

Balinda1 703x422

Ismael Balinda

Bya JOSEPH MAKUMBI  ne PATRICK TUMWESIGYE  

BAMUYIZZI tasubwa b’ebitongole bya Amerika ebikessi balondodde omukungu w’ekibiina ekigatta abavuzi ba ddigi mu Uganda ne bamukwata n’ebirungo ebyeyambisibwa okukola bbomu n’enjaga ey’obuwunga.

Ismael Balinda 35, omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ekigatta abavuzi ba ddigi mu Uganda ekya Motorcross Association (MA) yakwatiddwa ku ntandikwa ya wiiki ewedde mu kibuga Nairobi ekya Kenya oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga bamulondoola.

Kigambibwa nti Abamerika baludde nga balinnya Balinda akagere nga bakozesa ‘setirayiti’ okutuusa lwe baamukutte ku misango omuli okukukusa enjaga n’ebyokulwanyisa mu Amerika.

 oliisi mu maka ga alinda Poliisi mu maka ga Balinda

 

Olwamukutte, bambega ba Amerika baagenze butereevu mu maka ge ku kyalo Buzzi mu ggombolola y’e Ssisa ku luguudo lw’e Ntebe nga bawerekeddwaako poliisi ya Uganda ne basooka bazingako amaka gonna ne batandika okufuuza buli kimu.

Bino byonna byabaddewo ku Lwokusatu akawungeezi era Abamerika olwamaze okufuna bye beetaaga ne babizingako ne bavaawo nabyo olwo ebisigadde ne babikwasa poliisi ya Uganda n’esiba akaguwa akalaga nti ekifo kyaddiziddwaamu omusango era nga tebakkiriza muntu yenna asaalimbirawo.

Abamerika, Balinda baagenze naye mu Amerika   gye baavudde nga bamulondoola bamuvunaane okusinziira ku mateeka ga Amerika.

Ku Lwomukaaga, abakungu okuva mu kitongole kya poliisi ekirwanyisa ebiragalalagala, bazzeeyo mu maka okwekebejja ebyasigaddeyo wabula bye baazudde biwuniikiriza amatu.

 mu ku loole za oliisi ngetikiddwa ebimu ku byakwatiddwa Emu ku loole za Poliisi ng’etikiddwa ebimu ku byakwatiddwa.

 

ABADDE AZIMBA  KKOLERO LYA NJAGA MU BIYUMBA BY’ENKOKO

Bwe yali agula ettaka kwe yateeka amaka aga kalina ag’ekigagga, yagula ettaka ddene era ennyumba n’agizimba ku kkubo, emmanju n’alekayo ekibangirizi ekiwerako.

Yazimbamu ebiyumba by’enkoko ebya kalina muno mw’abadde atandise okuzimba ekkolero ly’enjaga n’ebintu ebirala.

Abadde yazimba ekikomera nga kiwanvu nnyo era omuntu ali ebweru nga tasobola kulaba kigenda mu maaso munda wabula alengera biyumba bya nkoko.

 bimu ku byakwatiddwa Ebimu ku byakwatiddwa.

 

Tinka Zarugaba kamisona wa poliisi eyakulembeddemu omulimu guno yagambye nti Balinda abadde ayagala okulowoozesa abantu ku kitundu nti mulunzi wa nkoko so ng’akola bintu bimenya amateeka.

Amini Kakembo, omu ku batuuze b’e Buzzi yagambye nti okumanya Balinda abadde n’ekigendererwa eky’amaanyi, abadde takkiriza muntu yenna kuyingira wuwe.

Amaka abadde yagateekako omukuumi abadde abeerawo nga ye ayitirawo lwa lumu era omukuumi we poliisi yamututte.  

 oliisi amaka yagazinzeeko tewali kwesaliikirizaayo Poliisi amaka yagazinzeeko tewali kwesaliikirizaayo.

 

BATISSE LOOLE SSATU EZ’EBIRUNGO BY’ENJAGA

Zarugaba yagambye nti, bwe baayazizza amaka ga Balinda baasanzeemu konteyina eya fuuti 40 ng’ekubyeko ebirungo ebyeyambisibwa okukola enjaga ey’obuwunga emanyiddwa nga ‘cocaine’ n’ekirungo ekyeyambisibwa bannabyamizannyo obutakoowa ekya ‘Methamphetamine’.

 Yagambye nti mu bye baazudde mulimu ekirungo kya Acetone, Acetic Acid, Hydrochloric Acid, Mercury ne Tyrone byonna ebyeyambisibwa mu kukola enjaga.

 “Simanyi muwendo mutuufu bintu gwe bibalirirwamu naye ziri mu buwumbi.” Zarugaba bwe yagambye.

Yagasseeko nti bino byabadde mu mapipa, obuveera, bbokisi ne mu bidomola era nga bisobola okukola kkiro z’enjaga ey’obuwunga 3,000.

Yagambye nti kkiro eri ku 50,000/= eza ddoola mu za wano 180,000,000/- n’agamba nti kkiro 3,000 ziba mu 540,000,000,000/-.

 kiyumba omubadde mutabulirwa ebyakwatiddwa Ekiyumba omubadde mutabulirwa ebyakwatiddwa.

 

Ebyuma byonna bye yabadde ategese okukozesa mu kukola enjaga, baabikutte n’ebipipa byonna nabyo ne babitwaala ate ku nnyumba ne balekawo abaserikale abagikuuma nga bwe balinda Abamerika bamale okumuvunaana nabo bamukwatemu.

Balinda abadde yakwatagana n’abasajja okuva mu Mexico bwe babadde bakolagana era kiteeberezebwa nti be babadde bamuteekamu ssente. Balinda musajja mufumbo.

 Abaanabe abadde yabayingiza omuzannyo gwa ddigi era abadde abeera nabo e Nairobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA