TOP

Omwaka mulamba ogwa Palamenti; Baabano ababaka abavumbedde

By Ahmed Mukiibi

Added 17th May 2017

Ku babaka ba Buganda abasoba mu 100, bwe twataganjudde ebiwandiiko bya ‘Hansard’ ne tuzuula ababaka ababadde mu Palamenti omwaka mulamba nga kyenkana bali mu bisisimuko, babugumya ntebe mu kifo ky’okuteeseza abantu abaabalonda.

Bata1 703x422

Mubarak Munyagwa owa Kawempe South yaakogera omulundi gumu mu mwaka.

Bya AHMED MUKIIBI Ne KIZITO MUSOKE

GUWEZE omwaka mulamba bukya ababaka ba Palamenti ey’ekkumi balayizibwa okutandika okukakkalabya emirimu gy’essiga lya Gavumenti erikola amateeka.

Ababaka abasoba mu 430 baalayizibwa wakati wa May 16 ne May 18, 2016.

Bannayuganda beesunga okuteesa n’okuyisa amateeka amalungi, okulondoola emirimu gya Gavumenti n’emirimu gyabwe nga bwe girambikiddwa mu Konsitityusoni n’amateeka amalala.

Mu kitundu kyaffe ekyokubiri tukuleetedde ababaka abava mu kitundu kya Buganda abavumbeeredde mu Palamenti mu mwaka ogusoose.  

 

Tweyambisizza ebiwandiiko ebitongole ebya Palamenti ebiyitibwa ‘Hansard’, okuzuula ababaka ababunira mu ntuula zonna entongole eza Palamenti eziyitibwa ‘Plenary’, ababaka mwe bayisiza amateeka, n’okusalawo ku nsonga ezikwata ku bantu n’ebitundu bye bakiikirira.  

Hansard’, bye biwandiiko ebitongole ebya Palamenti omusengekebwa byonna ebiteeseddwa mu lukiiko olukulu (Plenary) na buli linnya ly’omubaka abeera alina ky’ayogedde ne bw’abeera ayitabye buyitabi!

Ekitundu Buganda kirina ababaka abasukka mu 100 abakiikirira amasaza eg’enjawulo, abakiikirira disitulikiti za Buganda ezisukka mu 20, n’ababaka abalala abagwa mu ttuluba ery’abakiikirira abavubuka, abakozi, abavubuka, aba UPDF n’abalina obulemu.

Mu kukola emirimu gyabwe, buli mubaka alina obukiiko waakiri bubiri kw’atuula ate oluvannyuma bonna batuula mu lukiiko olunene era ebiwandiiko ebya ‘Hansard’, bissibwamu ebyo byokka ebiteesebwako mu lukiiko olunene, amateeka mwe gayisibwa n’ensonga ezikwata ku bantu mwe zisalibwawo.

Ku babaka ba Buganda abasoba mu 100, bwe twataganjudde ebiwandiiko bya ‘Hansard’ ne tuzuula ababaka ababadde mu Palamenti omwaka mulamba nga kyenkana bali mu bisisimuko, babugumya ntebe mu kifo ky’okuteeseza abantu abaabalonda.

Ababaka abasoba mu 50 bazuuliddwa nga bavumbeeredde mu Palamenti omwaka ogusoose nga waliwo abatavangamu wadde ekigambo ate abamu bukya balondebwa baakoogera omulundi gumu gwokka ate abamu beegaganudde ne boogera emirundu ebiri mu mwaka omulamba!

 

ABATAYOGERA BENNYONNYODDEKO:

Kato Lubwama agamba nti; “Palamenti teringa abamu bwe balowooza nti omala googera ku buli kimu ekikusala mu maaso. Ensonga ezisinga zisalibwawo bangi era ne bw’oyogera otya nga Gavumenti yakyagadde era bakiyisaawo kuba be balina ababaka abasinga obungi.” Kato Lubwamu yagugulanye ne Muwanga Kivumbi mu kakiiko k’Ebyokwerinda, Muwanga n’amuyita ‘ekiwulenge’, era Kato bwe yagenze e Butambala ku mukolo gwa Lydia Mirembe,(naye teyavuddemu kigambo), Kato Lubwama yeeyanjudde nti, “ Nange Ekiwulenge ky’e Lubaga South wendi.”  

Ate ababaka abalala baategeezezza nti, bapya nga balina okusooka okuyiga enteesa okuva ku bannaabwe abaluddemu kubanga Palamenti ya njawulo.

Ssebikaali Yoweri Joel (Ntwetwe- NRM) Bwe yabuuziddwa gye buvuddeko lwaki tawulirwa mu Palamenti, Yazzeemu nti kituufu mu Palamenti yali tayogerayogera nnyo, kyokka nga ye munywevu nnyo e Ntwetwe mu disitulikiti y’e Kyankwanzi kubanga tava mu bantu era y’omu ku babaka abasing okukolera ekitundu kye.

Kyokka bangi ku babaka bano abatavaamu kigambo, balina engeri gye bakolaganamu n’abaamawulire nga bafulumye ebweru wa Palamenti ne babawa omukisa okuteeseza awo.

Abalala bajjumbira nnyo okukyala ku mikutu gy’amawulire ne bayisiza okwo ebirowoozo byabwe.  

 

BANO BAAYOGERA OMULUNDI GUMU:

Mubarak Munyagwa (FDC, Kawempe South): Yayogera nga August 25, 2016. ‘Njagala kunnyonnyolwa okuva ewa minisita w’obutebenkevu mu ggwanga ku bikwata ku Sam Mugumya kuba amumanyi bulungi. Bombi bava Rukungiri era njagala kumanya oba nga kituufu nti yasindika omuserikale wa UPDF n’agenda abeereko by’abuuza Mugunga gye baamusibira e Congo?’

Aboud Kitatta (Bukoto West)  Ku Lwokubiri nga December 20, 2017 y’omu ku baakungubagira omugenzi Mathias Nsubuga. “Ntuusa okusaasira kwange eri famire y’omugenzi kuba kiruma nnyo okufiirwa omuntu mu kabenje ne mu ng’eri munnaffe gye yagenzeemu. Tumusaaliddwa era ne famire basigazza eddibu eritaliziba.”  

Sarah Najjuma (mukazi Nakaseke -NRM): yayogera August 10, 2016 n’abuuza Katikkiro wa Uganda ekibuuzo nti; “Njagala kumanya kuba eggulo bankubye empiso ya ‘Hepatitis B vaccine’ ku 15,000/- wano ku Palamenti. Kyokka bw’ogenda mu malwaliro amalala bakuggyako wakati wa 35,000/- ne 40,000/- Gavumenti erina nteekateeka ki okutaasa abantu baffe naddala abali mu byalo abatasobola ssente ezo?

 

Joy Kabatsi (Minisita omubeezi ow’ebyobulunzi ava Sembabule), yayogera August 10, 2016.    Endwadde ezisinga okutta ente zaffe ziva ku nkwa, era nga kyazuulibwa nti ente zaffe tuzifuuyira bubi. Abalunzi baffe balina okuyambibwa basobole okweyambisa abakugu mu kufuuyira enkwa.”

Edward Ssembatya (Katikamu South-NRM); nga December 20, 2017 mu kukungubagira Math¬ias Nsubuga. “Neeyanzizza nnyo Sipiika, era nnyimiridde okuwagira ekiteeso ky’okukungubagira omu¬genzi Mathias Nsubuga.”  

Idah Nabayiga (mukazi- Kalangala): nga February 1, 2017 “Nnyimiridde kuteesa ku nsonga y’okuggala oluguudo lwe tulina okuva e Kalangala okutuuka e Bugoma okutuuka e Bukakata e Masaka.”

Francis Zaake(Mityana Municipality); nga February 9, 2017; “Sipiika ku Ssande twafunye ekizibu mu ddwaaliro lye Mityana abasawo bwe baagaanyi okukola ku mukyala owoolubuto olw’okuba yabadde talina 5,000/- ez’omuzaalisa ekyamuviiriddeko okufa. Omukyala yazadde bulungi , kyokka n’avaamu omusaayi mungi n’abulwa amukolako.”  

Pauline Kemirembe (mukazi Lyantonde-NRM); nga January 18, 2017. “Ekinnyimirizza y’engeri abasibe gye bayisibwamu kuba batwalibwa ku faamu z’abantu ssekinnoomu. Bakolera 3,000/- olunaku, olumala ne babazza mu makomera ne babawaako 100/- zokka.”

 

Waliwo abeefuumuulira mu bukiiko

JAMES Abraham Byandaala (Katikamu North-NRM); Atuula ku kakiiko akabuuliriza ku bitongole bya Gavumenti aka COSASE. Wadde mu Palamenti ey’awamu asirika nnyo, kyokka mu kakiiko muteesa wa lulango. Ajjukirwa nnyo mu kukunya abakungu okuva mu kitongole ky’emisolo ekya URA ku buwumbi omukaaga.

John Bosco Lubyayi (Mawokota South); Atuula ku kakiiko k’ebyobusuubuzi era nga ye mumyuka wa ssentebe. Ajjukirwa mu kulwanirira ensonga z’abasuubuzi mu kibuga n’engeri gye baggya ku bapangisa ssente ennyingi.  

Yoweri Joel Ssebikaali (Ntwetwe), atuula ku kakiiko k’ebyobulamu mu Palamenti. Yateesa nnyo ku nsonga z’amalwaliro agali mu mbeera embi n’abasawo abeeyisa obubi.  

Ibrahim Kasozi Biribawa (Makindye East – FDC); atuula ku kakiiko k’ensonga za Pulezidenti. Mu kakiiko atera okwogera naddala nga balina abagenyi ab’enjawulo be bakyazizza.  

 

 

 

 Ziizino ensonga 16  ezibaziba emimwa  

 1 Olungereza; Abamu ku babaka balina obuzibu n’olulimi Olungereza, nti ne bwe babeera n’ensonga ebasiiwa nga bandyagadde okugyogera, olulimi lwesiba kubanga tebasobola kwegazaanyiza mu Lungereza. Singa amateeka gakyusibwa buli mubaka n’ateesa mu lulimi oluzaalirwana, omuwendo gw’ababaka abatateesa gusobola okukendeera ebitundu 90 ku 100. Olungereza luzibuwalirwa ababaka bangi ate ku bava mu Buganda gujjabagira

2 Omusaala kasita gugendayo; Singa ababaka baali basasulwa okusinziira ku buli omu ky’ateesa, bangi bandifubye okuteesa ne wankubadde bangi balina ekizibu n’olulimi, kyokka abamu ku babaka tebalaba nsonga lwaki bafa n’okuteesa ng’omusaala gwabwe gugendayo oba bateesezza oba tebateesezza. Ababaka abamu okugenda mu Palamenti baali banoonya mirimu era kati baawangula bagamba nti tebalina gatawaana na kuteesa.

3 Obutekkiririzaamu; Bangi ku babaka balina ekizibu eky’obutekkiririzaamu. Abamu beenyooma era buli lwe balowooza ku kuyimirira ku kazindaalo mu lujjudde, amameeme gabakuba nga batya okukola ensobi ne bannaabwe okubayeeya.

4 Obuyigirize; Abamu ku babaka abatateesa twakizudde ng’obuyigirize bwabwe bwa munyoto, abamu baakoma mu S.4 abalala baapangirira ebiwandiiko. Bano beesanga ng’ebiteesebwako mu Palamenti tebabitegeera.  

5 Okukugirwa ebibiina byabwe; Ababaka naddala ab’ekibiina kya NRM balina amateeka ag’ekibiina kyabwe agabafuga. Ensonga kasita bagikkaanyaako mu kabondo kaabwe, omubaka takkirizibwa kuwakanya oba okujjuuliriza.

6 Emisango mu kkooti; Abamu ku babaka abali ku lukalala lw’abatayogera, bamazeemu omwaka ogusooka nga baleebuukana n’emisango gy’obululu n’ebiwandiiko mu kkooti, nga tebateredde wamu okuteeseza abantu abaabalonda.

 

7.Ebiteesebwako bigumu; Ebimu ku biteesebwako mu Palamenti naddala amateeka agali mu bubage ne lipoota za Minisitule n’ebitongole bya Gavumenti bikakanyavu nnyo nga si byangu bya kutegeerwa omuntu owaabulijjo atalina bukugu. Bangi ku babaka tebalina kintu gye baakugukamu nga bw’olaba bannamateeka, abasawo, bayinginiya n’abakungu abalala nga y’ensonga lwaki bazibuwalirwa okutereeza ensonga

8 Abakyali abapya; Palamenti ey’Ekkumi erina ababaka abasukka mu 430 kyokka kumpi 300 bapya abayingidde Palamenti omulundi ogusoose. Bano bakyetaaga obudde okwetegereza Palamenti bw’ekola.

9 Okubuutikirwa; Ababaka abamu babuutikirwa ababaka abakadde n’ababaka ab’ebigambo ebingi buli kiseera abaagala okwogera ku buli nsonga ne batawa bannaabwe mukisa. Kino kiri nnyo ku babaka abasajja ababuutikira ababaka abakyala.

10 Tebalina bwagazi; Waliwo ababaka abatuula mu Palamenti kyokka ng’ebirowoozo biri mu bintu birala kubanga tebalina bwagazi. Abamu babeera ku ssimu eza Ipad ku Facebook ne WhatsApp nga banyumya n’okuwaanyisiganya ebifaananyi, ate abalala babeera mu ndabirwamu nga beerongoosa ebisige n’emimwa.

11 Tebalumirirwa; Ababaka abamu tebalumirirwa bantu n’ebitundu bye bakiikirira era abangi abagwa mu ttuluba lino, n’entuula za Palamenti ezisinga obungi bazoosa, babeera mu byabwe mu kibuga.

12 Tebibakwatako; Waliwo ababaka abakyogera lunye nti bo akalulu baagula kagule noolwekyo tebaagala kumanya birala, balinda myaka ettaano okuggwaako balabe ekiddako, eby’okuteesa tebibakwatako era tebalumirirwa balonzi.  

13 Obutamanya kya kwogera; Ababaka abamu batuula mu Palamenti nga baliwo kukuba ngalo n’okunyeenya emitwe ku bya bannaabwe bye boogera kyokka bbo tebavaamu kigambo.

14 Amabanja; Abamu ku babaka amabanja gabali mu bulago, baabeera mu kwekweka y’ensonga lwaki ne ku Palamenti balinnyayo bbalirirwe.

15 Baddayo okusoma; Waliwo ababaka abaddayo okusoma okutereeza empapula zaabwe n’abalala okusoma kkoosi ez’amakulu naddala okusoma eby’amateeka. Bano tebafuna budde buteesa nga batya okugwa kkoosi ze basoma.

16 Ttaamu egenda; Abamu ku babaka baasalawo dda nti tebagenda kuddamu kwesimbawo mu kisanja ekijja ekya 2021-26 era bano tebajjumbira nteesa za Palamenti era tebalina kye boogera balinda musaala gwokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....