TOP

Obulabe obuli mu kukyusakyusa abakozi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2017

Obulabe obuli mu kukyusakyusa abakozi

Se1 703x422

Hajji Jamil Ssebalu, mukugu mu byenfuna

Bannannyini mirimu bangi balowooza nti buli mukozi lw’akunyiiza oba olina okumugoba n’ofuna omulala. Kino si kituufu. Nga tonnalowooza kugoba mukozi yenna naawe nga mukama we sooka weetunulemu olabe oba enkozesa yo eri ku mutindo ogwo gwenyini ogwetaagisa. Abakozesa bangi tebamanyi kukozesa bakozi.

Kino okiraba ng ’ekyangu naye si kyangu nga bw’olowooza. Okukozesa omukozi oteekwa okuba nga naawe olina obumanyi, obuguminkiriza, ng’olina obusobozi obuyamba omukozi okukola omulimu gwe obulungi. Oteekwa okuba omuwabuzi, omuntu awa omukozi amaanyi okukola omulimu so si amumalamu amaanyi.

Abakozesa bangi obasanga, bavuma abakozi, babeekaanya, babalangira era buli kaseera beemulugunya nga balaga obutali bumativu mu nkola y’abakozi.

Era buli mugenyi ajja, bamunnyonnyola ng’abakozi be balina bwe bataso - bola mirimu. Kino kikyamu era si kya buntu. Ekirooto kyo Tewali mukozi atasobola mirimu. Naye omukozi okukola obulungi oteekwa okumuyambako.

Kubanga ggwe omanyi ekirooto kyo, era ggwe olina okukitaputira omukozi naye asobole okukiteeka mu nkola. by’ofiirwa bw’ogoba omukozi Buli lw’ogoba omukozi ofiirwa ebintu bingi, naye olw’obusungu oluusi tobimanyirawo.

i. Obukugu Bw’owandiika omukozi omupya, olina okumuyigiriza entambula ya bizinensi. Ebbanga ly’omala n’omuzannyi oba omusomesa engeri gy’akolamu omulimu ogwo kitegeeza nti bw’omugoba n’ofuna omulala era naye olina okumusomesa. Kino kitwala obudde ne ssente. ii.

Abehhanda zaabwe Omukozi w’akola takolawo yekka. Kumpi akola n’abehhanda ze bonna. Bw’obabuuza kitaabwe g y’akola bakugambayo n’essany u lingi ddala. Kale bw’ogoba kitaabwe nabo oba obagobye era ofuna obulabe n’okuva mu bo bennyini. iii.Oluganda lwo n’omukozi Buli lw’otandika okukozesa omuntu, muba mufuuse baaluganda era mu mbeera ennungi buli omu yeenyumiriza mu munne era akola kyonna ekisoboka okumuyamba. Kale bwe mwawukana n’oluganda lulina kukoma.

Oluganda omukozi lw’afuna ne bakasitoma Omukozi akola ewuwo afuna oluganda ne bakasitoma. Bano bafuuka mikwano gye era bayambagana mu ngeri zonna. Kale bw’ava ewuwo, asigaza oluganda n’abaali bakasitoma bo era ky’ova olaba nti asobola n’okugenda nabo eyo gy’agenda. Weegendereze nnyo ensonga eno. Ebyama byo Ebbanga omukozi ly’amala ewuwo, amanya ebyama bingi. Kkampuni ziba n’ebyama.

Kino tekitegeeza nti ziba n’ebyama ebibi, ebyama bino ebimu biba biyamba okusukkuluma ku banno abakola emirimu gye gimu. Wabula wabaawo n’ebyama ebirala by’otandyagadde kusaasaana wabweru, kale omukozi bw’omugoba ate omukomako otya obutasaasaanya byama? Omukisa Abakozi abamu balina emikisa era bw’okola nabo, kkampuni efuna ssente nnyingi.

So ng ’ate waliwo n’abo abalina ebisiraani, nga bw’ayingira ew uwo ebizibu bitandika okwesomba okukkakkana nga temukyasobola kugenda mu maaso. Tetugamba nti omukozi ne bw’anaaba alina empisa embi tetujja kumugoba; nedda, naye tusaana twegendereze nnyo nga tetunnagoba mukozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...