TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okukuba ekyeyo e Buwarabu: Teri kuddamu kusasuza bagendayo ssente

Okukuba ekyeyo e Buwarabu: Teri kuddamu kusasuza bagendayo ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

Gavt' eragidde kkampuni ezitwala abantu ebweru naddala mu kyondo kya Buwarabu obutaddamu kuggya ku bantu ssente.

Pius4 703x422

Pius Bigirimana

BYA MARY NAMBWAYO

Bino byayogeddwa omuwandiisi w’enkalakkalira mu Minisitule y'abakozi n’ekikula ky’abantu, Pius Bigirimana mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampala.

Bigirimana yagambye nti abavubuka bonna abagenda ebweru tebagenda kuddamu kusasula ssente za viza wamu ne tikiti z'ennyonyi ezibatwala n'okubazza kuba Gavumenti yatuuse ku nzikiriganya n'amawanga g'Abarabu okukkiriza Bannayuganda okukolerayo, n'olwekyo kkampuni zisasulira entambula y'abagendayo okukuba ekyeyo.

Wabula Bigirimana yasabye abantu okwewala okukozesa kkampuni ezitabasasulira tikiti kuba kuba singa omukozi amala n'afuna obuzibu naddala okutulugunyizibwa, oluusi kiba kizibu okulondoola.

Yayongeddeko nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulondoola abakolera ebweru, okulaba nga bayisibwa bulungi, basasulibwa bulungi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hwpcl10 220x290

Bawandiikidde Museveni ku nteekateeka...

EBIBIINA ebirwanirizi by’eddembe ku mutendera gw’ensi yonna biwandiikidde pulezidenti Museveni ebbaluwa nga bamusaba...

Funa 220x290

Owa P.7 afudde abazadde ne balya...

OMUYIZI wa P7 afudde abazadde ne batabukira essomero nga balirumiriza okulagajjalira omwana waabwe n’atafuna bujjanjabi...

Eddwaalirolyekawempenennyumbazabantukazambimwakulukuttirawebuse 220x290

Minisitule y’ebyobulamu esalire...

Kazambi akulukutira mu batuuze abaliraanye eddwaaliro ly'e Kawempe abeeraliikirizza ne basaba minisitule y'ebyobulamu...

Policy 220x290

Pulezidenti yeewunyizza Abatooro...

PULEZIDENTI Museveni katono asse abantu enseko bw’agambye nti Abatooro be Bannayuganda bokka abatannayiga kubba...

Bosa1 220x290

Carol Nantongo ssente za vidiyo...

ABAYIMBI Carol Nantongo owa Golden Bandi ne Sheebah Karungi gye buvuddeko baafulumizza oluyimba ‘Sirwana’ nga balaga...