TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Poliisi etandise okulambula kkampuni ezitwala abantu ebweru

Poliisi etandise okulambula kkampuni ezitwala abantu ebweru

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2017

POLIISI etandise okulambula kkampuni ezitwala abantu e Bulaaya okuzuula oba kituufu emirimu gye basuubiza abantu bano bagifuna ssaako okulaba nga zonna zikolera mu mateeka.

Pala 703x422

AC/Anatoli Muleterwa ng’ayogera eri abavubuka abatendekebwa okugenda ku kyeyo e Dubai.

“Nzize wano oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti kkampuni yammwe eno eya ‘Archeris New Ltd’ esangibwa e Lubowa etwala abantu e Bulaaya nga terina layisinsi wadde nkizudde nti ebyogerwa si bituufu.” Bwatyo amyuka kaminsona akulira poliisi n’omuntu waabulijjo mu ggwanga, AC/ Anatoli Muleterwa bwe yategeezezza.

Muleterwa eyawerekeddwaako abaserikale b’e Lubowa ne Kajjansi, yatuuse ku kitebe kya kkampuni eno ku Lwokutaano n’abuuza abagikulira empapula ezibakkiriza okukola era oluvannyuma ne bamulaga nti bakolera mu mateeka.

Yalabudde abaserikale mu bitundu amakampuni gano mwe gakolera okugalambulanga okuzuula ekikolebwa mu bikomera.

Yawabudde abavubuka be yasanze batendekebwa okutwalibwa e Dubai, Oman n’amawanga amalala abasukka 100, okusookanga okwetegereza bye babasuubiza okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.