Bya Fred Kisekka
KIRAABU 18 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Taekwondo eza Korea-Uganda Ambasaddor Taekwondo Championship ezigenda okubumbujjira mu kisaawe kya MTN Arena e Lugogo nga 27 ne 28 omwezi guno.
Abazannyi abasoba mu 150 bebasuubirwa okwetaba mu mpaka zino okuva mu kiraabu nga UPDF, Prisons,Pan African, Mbuya Taekwondo Academy, Gulu era bakuttunkira mu buzito bwa mirundi mukaaga omuli Fly, Bantam, okutuuka ku heavy weight.
Hakim Kato Ahimbisibwe nga y'amyuuka Pulezidenti w’ekibiina ekifuga Taekwondo mu ggwanga agambye nti empaka zirubiridde okufuna ttiimu kabiriiti en'akiikirira Uganda mu mizannyo gya World Taekwondo Championship e Seoul mu South Korea egy’okuberawo mu September w’omwaka guno.
“Tusuubira abazannyi abassuka mu 150 era empaka zeezigenda okusunsula ttiimu y’eggwanga eyetegekera ezitali zimu omuli n’eze nsi yona” Ahumbisibwe bw'ategeezezza.
Mu ngeri yeemu kiraabu 6 okuva e Kenya, Rwanda ne Tanzania nazo zaakwetaba mu mpaka zino.