TOP

Basabye akaduukulu k’e Nalufenya kaggalwe

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2017

Basabye akaduukulu k’e Nalufenya kaggalwe

Ki3 703x422

bano. Gavumenti yakizudde nga waliwo obwetaavu bw’okwongera okutendeka abaserikale ku bukodyo bw’okuggya obujulizi mu muntu gwe baba bakutte nga tebamutulugunyizza. Wabula aba DP basabye Pulezidenti Museveni okukola kye baayise ‘okwenaazaako omusaayi’ gwa Bannayuganda abatulugunyizibwa ng’assaawo okubuuliriza n’okukangavvula abeebyokwerinda abagambibwa okutulugunya abasibe abateeberezebwa okuzza emisango. Basabye Pulezidenti aveeyo mu bulambulukufu annyonnyole oba Gavumenti yava ku nkola y’okutulugunya abantu eyakolebwanga nga bakyali mu nsiko mu buyeekera, DP gy’erumiriza nti mwalimu okusiba abantu ‘akandooya’ n’okubakolako effujjo baboogeze bye basirikidde. Baalangiridde nga bwe bagenda okukuhhaanya amannya g’ebifo yonna gye batulugunyiza abantu babiwe spiika Kadaga, kuba ebifo bingi nnyo, wadde nga mu kiseera kino eggwanga lyesibye ku Nalufenya yokka. Kamateeka

LIPOOTI y’akakiiko akaasindikibwa okubuuliriza ku kutulugunya abasibe e Nalufenya kafulumizza lipooti ne kakuba ebituli mu nzirukanya y’akaduukulu ka poliisi kano era omu ku bakatuulako n’awa amagezi kaggalwewo.

Mu lipooti y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu eyasomeddwa ssentebe waako, Jovah Kamateeka eri Palamenti, akakiiko kaazudde nti abasibe bamala ekiseera ekisussa ennaku ebbiri mu kaduukulu nga tebatwaliddwa mu kkooti, ekimenya amateeka (abamu bamazeeyo mwezi)! Tebakkirizibwa kulaba balooya wadde ehhanda zaabwe. N’abantu ba bulijjo okugendayo si kyangu, byonna ebiraga nti si kaduukulu ka bulijjo.

Ye omuduumizi wa poliisi, Gen. Kale Kayihura teyalabiseeko mu kakiiko ka Gavumenti akalondoola eddembe ly’obuntu aka ‘Uganda Human Rights Commission’. Ebitongole ebikuumaddembe okuli poliisi, UPDF n’ebirala byabadde biyitiddwa ku kitebe ky’akakiiko e Nakasero okwogera ku kukuuma eddembe ly’obuntu. Amooti Katabalirwe ow'akakiiko kano yagambye nti ebitongole byayitiddwa okwogera ku nsonga z'okutulugunya abantu ekisusse kyokka poliisi n'etera-bikako.

Ebyo nga biri awo, nnampala w’ababaka ba NRM mu Palamenti, Ruth Nankabirwa ategeezezza nti gavumenti yaakuvunaana abaserikale baayo bonna abanaakwatibwa nga beenyigidde mu bikolwa by’okutulugunya abantu kuba eno si nkola ya Gavumenti. Yategeezezza nti waliwo abaserikale bataano abaakwatiddwa ne basimbibwa mu kkooti nga babalanga kutulugunya basibe e Nalufeenya.

Kyokka yagaanyei okwatuukiriza amannya g’abaserikale bano. Gavumenti yakizudde nga waliwo obwetaavu bw’okwongera okutendeka abaserikale ku bukodyo bw’okuggya obujulizi mu muntu gwe baba bakutte nga tebamutulugunyizza.

Wabula aba DP basabye Pulezidenti Museveni okukola kye baayise ‘okwenaazaako omusaayi’ gwa Bannayuganda abatulugunyizibwa ng’assaawo okubuuliriza n’okukangavvula abeebyokwerinda abagambibwa okutulugunya abasibe abateeberezebwa okuzza emisango.

Basabye Pulezidenti aveeyo mu bulambulukufu annyonnyole oba Gavumenti yava ku nkola y’okutulugunya abantu eyakolebwanga nga bakyali mu nsiko mu buyeekera, DP gy’erumiriza nti mwalimu okusiba abantu ‘akandooya’ n’okubakolako effujjo baboogeze bye basirikidde.

Baalangiridde nga bwe bagenda okukuhhaanya amannya g’ebifo yonna gye batulugunyiza abantu babiwe spiika Kadaga, kuba ebifo bingi nnyo, wadde nga mu kiseera kino eggwanga lyesibye ku Nalufenya yokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...