TOP

Katonga guwaguzza mmotoka tezisala

By Musasi wa Bukedde

Added 24th May 2017

Katonga guwaguzza mmotoka tezisala

Lo5 703x422

Abantu babaweeka buweesi okusomoka omugga Katonga.

BANTU abakozesa oluguudo oluva e Masaka okudda e Gomba amagezi gazzeemu okubeesiba olw’omugga Katonga ogwajjudde ne gubooga era kati emmotoka tezikyasomoka. Embeera eno egootaanyizza ebyentambula ng’esinze okukosa abasuubuzi abagenda okuva e Gomba ne disitulikiti eziriraanyeewo nga babitwala e Masaka n’okweyongerayo n’abava e Masaka okutunda e Gomba n’emiriraano ebintu.

Mu April ne May wa 2016, omugga guno we gwawulira disitulikiti y’e Kalungu ku Gomba gwajjula amazzi ne gasalako ekkubo okumala emyezi etaano nga tewali mmotoka esomoka. Bassentebe owa Kiryamenvu - Kiryannongo e Kifampa mu Kabulassoke - Gomba, Fenekansi Beebwa Sserwadda n’ow’e Lwabenge mu Kalungu, David Sseggawa bategeezezza nti omugga gubakutuddeko.

“Wadde abavubuka bakyagezaako okusomosa ku bantu ku bigere ne pikipiki, tulina okutya kubanga amazzi geeyongera bungi era obudde bwonna balemererwa”, Sserwadda bwe yategeezezza. Sseggawa agasseeko nti n’olutindo wakati amazzi gatandise okulutwala ng’obudde bwonna lusobola okubumbulukuka era ekitundu ekinene kiyinza okutwalibwa.

Omusango bagutadde ku kitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA ne gwe kyakwasa ttenda y’okululabirira olutindo luno okululabirira okumala emyaka esatu Ying. Benon Mugarura. Baagambye nti, olutindo lwetaaga kusitula ne bassaamu ebigoma ebineneko oba okuzimbibwamu olutindo oluli ku luguudo lwa Kampala - Masaka nga kijja kuyamba amazzi obutaluziba buli sizoni ya nkuba.

Omugga Katonga gukuluggusa amazzi okuviira ddala mu Bunyoro ne gukuhhaanyizzaako eg’emigga emirala okuli Nabajjuzi ogusibuka e Masaka olwo ne gutwala amazzi gano mu nnyanja Nalubaale mu bitundu by’e Buganga n’amalala ne gayitira mu lusenyi lwa Lwera ne gatuuka ku nnyanja.

Bassentebe Sseggawa ne Sserwadda basabye Pulezidenti Museveni nga mutuuze munnaabwe e Kisozi mu Gomba abalowoozeeko. Abatuuze nabo basabye ababaka ba Palamenti aba Gomba ne Kalungu nabo batuuse obuzibu bwabwe mu Palamenti kubanga embeera ebayitiriddeko.

Mu kiseera kino, abavubuka abagumye okusomosa abantu babaggyako wakati wa 2,000/- ne 3,000/- ate abaana 1,000/- ng’obugaali n’e pikipiki nabyo babiggyako ssente zaabwe. Mmotoka ezikwamye kasiringi y’ezisika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.

Noise 220x290

Abatendeka baddereeva abamu ba...

BADDEREEVA okulemeramu okuvugisa ekibamo kivudde ku masomero mwe baayigira okuvuga agatalina bisaanyizo nga kye...

Plus 220x290

Bebe Cool awadde Bannayuganda essuubi...

OMUYIMBI Bebe Cool ayanjulidde Bannayuganda naddala abayimbi abakyanoonya okuvaayo ettu lye yabaleetedde okuva...

Fikfameika 220x290

Fik Fameica ali mu kkooti lwa kubba...

OMUYIMBI Fik Fameica bamututte mu kkooti ku bigambibwa nti yabba oluyimba.